TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Judith Nabakooba abadde omwogezi wa Poliisi akyusiddwa

Judith Nabakooba abadde omwogezi wa Poliisi akyusiddwa

Added 7th April 2014

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale be mw'aggyidde Judith Nabakooba ku bw’ ogezi bwa poliisi mu ggwanga n’amuwa ekifo ky’obumyuka bw’omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo wamu n’eby’obufuzi mu kitongole kya poliisi ekikulirwa Asuman Mugenyi.BYA Joseph Mutebi

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale be mw'aggyidde Judith Nabakooba ku bw’ ogezi bwa poliisi mu ggwanga n’amuwa ekifo ky’obumyuka bw’omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo wamu n’eby’obufuzi mu kitongole kya poliisi ekikulirwa Asuman Mugenyi.

ACP/ Fred Enanga, abadde aduumira ekitongole ky’eby’ettaka mu poliisi kati ye mwogezi wa poliisi mu ggwanga ng’amyukibwa SP/ Polly Namaye abadde omwogezi wa poliisi e Mbarara mu bitundu by’e Lwizi ng’eno gye basindiise abadde omwogezi wa Kampala n’emiriraano, Iddi Ebin Ssenkumbi.

Patrick Onyango abadde amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga kati gwe bafudde omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano ate Julius Tunomugisha abadde amyuka aduumira ekitongole ky’eby’ettaka kati akuziddwa okuduumira ekitongole kino.

Nabakooba ye mukyala asoose okubeera omwogezi wa poliisi mu Uganda era yategeezezza nti ekifo kye bamuwadde agenda kwongera okugatta poliisi n’omuntu wa bulijjo wamu ne bannabyabufuzi kubanga byombi abimanyi bulungi.

Ebirala ku Nabakooba.....

 

Judith Nabakooba abadde omwogezi wa Poliisi akyusiddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ SSAYANSI W'OBULAMU; Ebyo...

▶️ SSAYANSI W'OBULAMU; Ebyobulamu bwe biyimiridde mu Uganda.

Omulunzi ng'annyola engeri gy'olunda embuzi.

▶️ OMULIMISA; Omukugu akuyi...

▶️ OMULIMISA; Omukugu akuyigiriza okulunda embuzi ozifunemu.

Okusuubula e China.

▶️ By'olina okumanya ng'oge...

▶️  ENSIMBI N'EMIRIMU :By'olina okumanya ng'ogenda okusuubula e China.

Wamma gwe ssente z'akameeza ozikozesa otya.

▶️ Wali olowoozezako ku nge...

▶️ WASIWASI AKAMEEZA : Wali olowoozezaako ku ngeri gy'osasaanyaamu ssente zebakulekera awaka?

Hiraleey Mukundane ( ku kkono ng'attunka ne Ibrahim Dada ( ku ddyo)

URA FC eyigga buwanguzi ku ...

Ku lwokubiri mu StarTimes Premier League  URA FC vs KCCA FC   BATABANI ba Sam Ssimbwa aba URA FC bakomawo...