TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakunyizza ab'ekitongole ky'obwa nnakyewa ku nsonga za Kibwetere

Bakunyizza ab'ekitongole ky'obwa nnakyewa ku nsonga za Kibwetere

Added 7th April 2014

AKAKIIKO ka palamenti ak’ensonga z’omunda balagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibiina by’obwa nnakyewa okuleeta faiyiro ne kalonda yenna akwata ku ddiini ya Joseph Kibwetere ne banne abaayokera abantu 1,000 mu ssinzizo e Kanungu.Bya Muwanga Kakooza

AKAKIIKO ka palamenti ak’ensonga z’omunda balagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibiina by’obwa nnakyewa okuleeta faiyiro ne kalonda yenna akwata ku ddiini ya Joseph Kibwetere ne banne abaayokera abantu 1,000 mu ssinzizo e Kanungu.

Abakungu b’ekibiina kino ekimanyiddwa nga NGO Board abaakulembeddwa ssentebe Gabriel Kangwagye baabadde mu kakiiko kano nga bazze okubuuzibwa ku bikwata ku ddiini y’okuzzaawo amateeka ekkumi eyali etandikiddwaawo Kibwetere eyavaako okuva kw’abantu e Kanungu mu bugwanjuba bwa Uganda.

Kino kiddiridde abe’ng’anda z’abafiira mu muliro gwa Kibwetere okwekubira enduulu mu Palamenti nga baagala Gavumenti ebaliyirire.

Kibwetere kigambibwa nti eddiini ye yawandisibwa mu Uganda 1993 kyokka ababaka ku kakiiko ka Palamenti kano, abakubirizibwa Benna Namugwanya, bagamba kigambibwa nti ab’ekitongole kino abaaliwo mu kiseera ekyo baabalabula obutawandiisa ddiini eno kyokka ne bagenda mu maaso.

Ababaka baasabye fayiro ekwata ku kuwandisibwa kw’eddiini ya Kibwetere wamu n’ebyava mu kunoonyereza ku kufa kw’abantu mu ddiini eno.

Ab’ekitongole baagambye nti fayiro eno erina w'eri aweekusifu wegenda bagenda kugireeta mu Palamenti.

Omuduumizi wa poliisi ng’ali mu Palamenti wiiki ewedde yategeeza nti Kibwetere ne banne kigambibwa beekukumye mu ggwanga lya Malawi.

...........................................................................

Kibwetere ne banne bandiba e Malawi - Poliisi

...........................................................................

Joseph Kibwetere y'ani?

  • Joseph Kibwetere ye yali akulira ekibinja ky'enzikiriza ya The Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God.
  • Nga 17 March 2000 abantu 1000 be baafira mu nnabbambula w'omuliro mu ssinzizo lya Kibwetere e Rukungiri ( kati Kanungu disitulikiti).
  • Kibwetere yali musomesa wa Pulayimale era yakolako nga amyuka omulabirizi w'amasomero mu Ssaza lya Mbarara Catholic Diocese.
  • Yalina abaana 16 nga basatu ku bbo yabazaala mu bakazi abatali bagatte mu bufumbo butukuvu.
  • Yeyayingiza Credonia Mwerinde n'abakyala abalala babiri okuli; Angelina Mugisha ne Ursula Komuhangi mu ddiini ye.

 

Bakunyizza ab''ekitongole ky''obwa nnakyewa ku nsonga za Kibwetere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....