TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwebaasuulira abaana 3 bamulemeredde: Kitaabwe ali Luzira

Gwebaasuulira abaana 3 bamulemeredde: Kitaabwe ali Luzira

Added 8th April 2014

NNANNYINI ssomero omuzadde gwe yalekera abaana yeekyaye n''abatwala ku poliisi ng''agamba nti talina waakubateeka ng''olusoma lwa ttaamu esooka luweddeko.



Bya Eria Luyimbazi

NNANNYINI ssomero omuzadde gwe yalekera abaana yeekyaye n'abatwala ku poliisi ng'agamba nti talina waakubateeka ng'olusoma lwa ttaamu esooka luweddeko.


Latifa Nambirige, nnannyini ssomero lya Haika Nursery and Day Care e Nansana ye yasitudde abaana abasatu, kitaabwe Saidi Kafumbe Mukasa be yaleeta okusoma kyokka n'ataddamu kulabikako n'abatwala ku poliisi ya CPS.

Yagambye nti Kafumbe yamukakasa nga bw'akola omulimu gw'okukuba obutabo wabula okuva lwe yaleeta abaana teyakomawo kubawandiisa ate nga teyamubuulira gy'abeera okusobola okubazzaayo nga kino kye kyamuwalirizza okubatwala ku poliisi.

Ofiisa wa poliisi akola mu nsonga z’abaana n’amaka ku CPS, Sgt Grace Namayanja yagambye nti baakitegeddeko nti Kafumbe eyasuulira Nambirige abaana nga bw'ali mu kkomera e Luzira oluvannyumwa lw'okukwatibwa mu misango gye batannategeera era bagenda kuwandikira ekitongole ky’amakomera okuzuula ekyamutuukako.

Yategezezza nti Nambirige yakola ensobi okukuuma abaana bano ebbanga lino lyonna n'atategeeza ku poliisi ku byamutuukako wabula nga bwe banaafuna Kafumbe bagenda kumuggulako omusango gw’okusulira omuntu abaana.

Poliisi yagguddewo omusango oguli ku fayiro nnamba SD 26/08/04/2014.

Taata asudde abaana 3 ku ssomero n''atadda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...