
BYA MOSES LEMISA
ABATEMA mmotoka enkadde e Bwaise balwanaganye n'abaserikale bwe bakoze ekikwekweto ky'okunoonya ababba mmotoka ne bazitema.
Ku Lwokuna poliisi y’oku luguudo Northern ku Kaleerwe eyabadde edduumirwa John Kawamala ng’ayambibwako abasirikale b’eggye ezzibizi baakoze ekikwekweto mu bamakanika n’abatema mmotoka abeegatira mu kibiina kya Mambule Traders Association nga kigambibwa nti babba mmotoka ne bazitema sipeeya ne bamutunda mu maduuka ag'enjawulo agatunda eby’emmotoka .
Ekikwekweto kino kiddiridde poliisi okufuna amawulire nga bwe waliwo ekibinja ky’abamakanika abaavudde ewa Kisekka nga bano batandise okubba mmotoka ne bazitema sipeeya ne bamutunda mu maduuka ag'enjawulo mu Kampala.
Charles Nsaba akulira Poliisi y’oku Kaleerwe yalagidde omumyuka we, John Kawamala okukola ekikwekweto okukwata buli akolera ewa Mambule atalina kaadi ya mulimu kyokka wakati mu kikwekweto omu bakolera mu kifo eyategeerekeseeko erya Ssentongo yatandise okuvuma abasirikale n’okwagala okubakuba amayinja.
Ronald Ssemambo akulira eby’okwerinda mu basuubuzi yategeezezza nti abasuubuzi abakolera mu kifo kino bawera 500 kyokka mu kiseera kino waliwo abapya bangi nga tebamanyiddwa nga waliwo amawulire agatandise okuyiting'ana nti abasuubuzi be wa Mambule babba mmotoka ne bazitema.
Yayongeddeko nti abasuubuzi baabalagidde bafune ebiboogerako abamu ne bagaana wano we yasabidde abakuuma ddembe okukola ekisoboka okulaba nga bakwata abantu abatakolera wa Mambule be yagambye nti be bavaako obuzibu.
Abatema mmotoka enkadde balwanaganye ne Poliisi e Bwaise