TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakazi mukomye okuggyamu embuto - Ssaabalabirizi Ntagali

Abakazi mukomye okuggyamu embuto - Ssaabalabirizi Ntagali

Added 15th April 2014

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali asabye abazadde balabirire abaana mu ngeri ematiza n’alabula bamaama abaggyamu embuto n’abasuula abaana bakikomye kubanga buno bubeera butemu bwennyini ku mabujje agatalina musango.



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali asabye abazadde balabirire abaana mu ngeri ematiza n’alabula bamaama abaggyamu embuto n’abasuula abaana bakikomye kubanga buno bubeera butemu bwennyini ku mabujje agatalina musango.

Yalabudde abantu bonna nga bali mu wiiki eno Entukuvu bulijjo okutwala eky’okulabirako kya Yesu Kristo kye yalaga eri abaana bwe yagamba nti muleke abato bajje gyendi kubanga be bannannyini Bwakabaka bwa Katonda.

Dr. Samuel Luboga, ssentebe w'olukiiko olufuzi lwa Sanyu Babies' Home ng'ayogera eri Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, Ssabalabirizi Stanley Ntagali ne mukyala we ku lunaku Ssabalabirizi lwe yamalirizza okulambula Obulabirizi bw'e Namirembe ku Ssande.

Okwogera bino yabadde ku Sanyu Babies’ Home e Mengo ku Ssande, ng’amaliriza okulambula Obulabirizi bw’e Namirembe okututte wiiki ennamba nga yawerekeddwaako Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira.

Baabatizza abaana bataano. Barbara Nankya Mutagubya akulira ekifo kino yannyonnyodde nti olumu abazadde abaana babasuula mu kaabuyonjo ne babannyululayo ne babalabirira.

Okuva ku kkono, Babre Nankya Mutagubya akulira Sanyu Baby's Home, Rev. Sam Luboga Ssentebe w'olukiiko olufuzi, Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce kityo Luwalira, Ssabalabirizi Stanley Ntagali ne mukyala we nga basitudde abaana ku Sanyu Babies' e Menngo. Ebifaananyi bya Benjamin Ssebaggala.

Abakazi mukomye okuggyamu embuto - Ssaabalabirizi Ntagali

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...

Abazannyi ba Gomba nga basanyikira emu ku ggoolo ezaateebeddwa Charles Bbaale (asitamye ku kkono).

Gomba ne Buddu zifungizza k...

BANNABUDDU n'abava e Gomba essanyu katono libaabye eggulo, ttiimu zaabwe bwe zeesozze semi y'empaka z'omupiira...

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

Aba P7 bafunye ebinaabayisa...

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE....

Omusumba Kisitu ng’amansira amazzi ag’omukisa ku ntaana ya Nankyama. Mu katono bwe yali afaanana.

Bajjukidde Ssaabasumba Nank...

OMUSUMBA w'Abasodookisi atwala ekitundu ky'obukiikakkono n'obuvanjuba bwa Uganda Silvestos Kisitu asabye abantu...