
Bya Eria Luyimbazi
EKITONGOLE kya #KCCA kiragidde abalina obuyumba ku luguudo lwa Nakivubo, okulinaana awaali eddwaliro lya Dr. Kisekka, mu muluka gwe Kagugube okubusengulawo mu bwangu.
Amyuka omwogezi wa KCCA, Robert Kalumba yagambye nti abakolera mu buyumba bunno baalabulwa dda okubuggyawo wabula be bagaana ekiraga nti balinze KCCA ebuggyewo ku mpaka.
“Abantu abakolera mu buyumba buno twabawandiikira mu butongole n'okubalabula baggyewo obuyumba bwabwe kuba buli mu bifo bikyamu naye balabika beesisigirizza balinga abalinze KCCA y'eba ebumenya olwo banoonye awalala we bayinza okubuteeka,” Kalumba bwe yagambye.
Yagambye nti ekitongole kiwadde abantu abakolera mu buyumba buno okutuusa ku Lwokutaano nga bamaze okubuggyawo, singa banaalemererwa KCCA ejja kugendayo ebusengule ku Lwomukaaga ku mpaka.
Wabula abalina obuyumba mu kifo kino beemulugunyizza nga bagamba nti KCCA yandibadde ebalaga ekifo webasobola okukolera okusinga okubagobaganya.
Okukola okulabula kuno abakozi ba KCCA baakulembeddwa poliisi okusobola okwewala okulumbibwa abavubuka abakozi b’efujjo abaabadde batandise okwagala okubalumba babatuuseeko obulabe.
KCCA egobye abakolera ku luguudo lwa Kisekka