TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abeesibira mu bokisi ne banyaga amaduuka mu Kampala bakwatiddwa

Abeesibira mu bokisi ne banyaga amaduuka mu Kampala bakwatiddwa

Added 16th April 2014

ABAVUBUKA bayiiyizza akakodyo k’okubba ssente mu dduuka omu bw’asibidde munne mu kibokisi n’akitwalayo ne bamuggaliramu n’abba ssente ezisoba mu bukadde 25 ezaabadde zirekeddwa mu seefu.



ABAVUBUKA bayiiyizza akakodyo k’okubba ssente mu dduuka omu bw’asibidde munne mu kibokisi n’akitwalayo ne bamuggaliramu n’abba ssente ezisoba mu bukadde 25 ezaabadde zirekeddwa mu seefu.

Paul Luwalagga,  ow’e Kabowa mu Sserwadda Zooni yasibidde William Kamara mu kibokisi n’akitwala mu dduuka ly’engoye erya David Li ku William Street nga yeefudde aliko by’ayagala okugula n’akirekamu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyago yagambye nti nnannyini dduuka bwe yalabye Luwalagga takomawo ate ng’obudde buzibye n’asibawo nga wano Kamara we yamenyedde seefu n’abba ssente.

David bwe yagguddewo edduuka enkeera kwe kulaba nga seefu emenyeddwa ate amangu ago n’alaba  omuvubuka ng’abuuka mu kibokisi adduka nga bw’amansa ssente okusobola okulemesa abantu okumukwata.

Waayiseewo akaseera katono ne Luwalagga n’atuuka ng’akimye ekibokisi n’akwatibwa. Baakwatiddwa ne baggulwako omusango  ku fayiro CRB627/14.

 

Abeesibira mu bokisi ne banyaga amaduuka mu Kampala bakwatiddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...

Kasule Lumumba (ku kkono) Sseggona ne Abdallah Kiwanuka (ku ddyo) balooya ba NUP.

▶️ Ebya Bobi okuva mu mus...

KKOOTI y'oku Ntikko esanze obulippo bw'ekkirizza okusaba kwa Robert Kyagulanyi okuggyayo omusango gw'okusazaamu...

Katoto

Eyawangudde eky'omubaka bam...

EYAWANGUDDE eky'omubaka wa plamenti bamututte mu kkooti ku misango gy'okutunda ettaka n'alemera ekyapa. Mohammad...