
Bya Luke Kagiri
Minisita w’ebyobulamu, Dr. Ruhakana Rugunda agumizza abasawo mu ggwanga nga Gavumenti bw’eri mu ntegeka okwongera ensimbi mu byobulamu, embeera mwebakolera esobole okulongooka.
Byabadde mu bubaka bwe bwe yatisse kamisona mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Anthony Mbonye, ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abazaalisa, ogwabadde ku mbuga y’essaza e Mityana wiiki ewedde.
Dr. Rugunda yalaze obweraliikirivu nti olw’omuwendo gw’abaana abafa nga baakazaalibwa ogukyali waggulu n’abakyala abafiira mu ssanya n’asaba abantu abenjawulo okukolagana n’abasawo okubirwanyisa n’akuutira n’abasawo okufuba okutaasa obulamu bw’abaana abafuna embuto nga bakyali bato.
Sr. Christine Akumu, okuva mu minisitule y’ebyobulamu eyayogedde ku lw’abasawo yagambye nti embeera mu malwaliro ekyali mbi nnyo, emisaala gy’abasawo girwawo okutuuka n’obutaba na mayumba gasulwamu n’ebirala.
Moses Kirigwajjo eyakiikiridde ebitongole ebyobwannakyewa yasabye Gavumenti ekkirize amatendekero g’abasawo gazzibwe mu minisitule y’ebyobulamu kuba erina obusobozi bw’okubatendeka obulungi.
Ebyobulamu byakwongerwa ensimbi - Minisita