TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti esabye Gavt. okutegeka okulonda kwa LC

Palamenti esabye Gavt. okutegeka okulonda kwa LC

Added 12th May 2014

ABABAKA ba Palamenti basabye Gavumenti ekole ekisoboka okutegeka okulonda obukiiko bwa LC1 ne LC 2 ne bwe kiba kyetaagisa kuzzaawo nkola ya kusimba mu migongo eyaliwo mu myaka gy’ekinaana (1980).



BYA MUWANGA KAKOOZA

ABABAKA ba Palamenti basabye gavumenti ekole ekisoboka okutegeka okulonda obukiiko bwa LC1 ne LC 2 ne bwe kiba kyetaagisa kuzzaawo nkola ya kusimba mu migongo eyaliwo mu myaka gy’ekinaana (1980).

Kino kiDdiridde akakiiko k’ebyokulonda okusabanga gavumenti okukawa ssente z’okutegeka okulonda kw’enkiiko za LC1 ne LC2 n'egaana ng’egamba nti tezirina.

Mu bajeti egenda okusomwa mu June 2014, akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti keetaaga obuwumbi 53 okutegeka okulonda kw’obukiiko bwa ba LC1 ne LC2 kyokka tekinnategeerekeka oba ku mulundi guno kanaaziweebwa.

Minisita wa Gavumenti z’ebitundu, Adolf Mwesigye, bwe yabadde mu Palamenti gye buvuddeko yagambye nti Gavumenti ekole enteekateeka okulonda kw’enkiiko za LC 1 ne LC2 kukolebwe wamu n’okulonda kwa 2016.

Kyokka ababaka baagambye nti obukiiko bwa LC1 ne LC2 obuliwo kati buliwo mu bukyamu era n'emirimu gye bukola tegiri mu mateeka nga kyetaagisa okulonda obupya.

Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka, Steven Tashobya, yategeezezza akakiiko ka Palamenti aka bajeti nti Gavumenti esaanidde etegeka okulonda kw’obukiiko buno ne bwekiba kyetaagisa kusimba mu migongo gy’abeesimbyewo.

‘’Amateeka gasobola okukyusibwa okulonda kw’okusimba mu migongo kuddawo’’ Tashobya bwe yagambye. Tasobya yasabye Gavumenti evveeyo eyogere w'eyimiridde ku nsonga y'okulonda obukiiko bwa LC.

Enkola y’okusimba mu migongo yadibizibwa n’esikizibwa ey’akalulu ak’ekyama ng’abantu beemulugunya nti yali esiga empalana kuba abantu baamanyanga mu lwatu buli eyetabye mu kulonda gw'awadde akalulu.

Kyokka abakakiiko ka Palamenti aka bajeti baagambye nti bagenda kusimba nnakakongo okulaba nga Gavumenti ewaayo ssente z’okulonda kuno.

Omubaka Geofrey Ekanya (Tororo) yawadde Gavumenti amagezi eddire ssente z’ewa ababaka ba NRM okwebuuza ku nsonga ezitali zimu zeeyambisibwe okutegeka okulonda kw’obukiiko buno olwo nalwo luggwe!.

 

Palamenti esabye Gavt. okutegeka okulonda kwa LC

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Putin owa Russia

Abakulembeze bayozaayozezza...

ABAKULEMBEZE b'amawanga bayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okulondebwa ku bwapulezidenti bwa Uganda....

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri ab’e Lyantonde eggulo.

Pulezidenti Museveni avudde...

PULEZIDENTI Museveni akomeddewo mu maanyi okuva mu makaage e Rwakitura gy'abadde okuva lwe yawangula akalulu okujja...

Erias Lukwago ng’amenyeka omuziki oluvannyuma lw’okuwangula obwa  Loodi Mmeeya ekisanja ekyokusatu.

Ebyewuunyisa mu kalulu ka K...

OKULONDA kwa Loodi Mmeeya ne bakkansala mu Kampala kubaddemu ebyewuunyisa, abalonzi bwe baalonze FDC Erias Lukwago)...

Irene Nanyanzi Mwebe owa NRM yawangudde Lukaya TC.

Aba NUP beefuze obwakkansala

OKULONDA bakkansala ab'ekibiina kya NUP baakwefuze. E Mukono mu magombolola gonna agakola disitulikiti eno okuli...

Omugenzi Omusumba John Baptist Kaggwa

Omusumba Kaggwa ebintu by'a...

KLEZIA efulumizza n'okulambika enteekateeka z'okuziika Omusumba w'e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa eyafudde...