TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kalungi eyavaako okufa kwa Nebanda aziddwaayo e Luzira

Kalungi eyavaako okufa kwa Nebanda aziddwaayo e Luzira

Added 21st May 2014

ADAM Kalungi eyali muganzi w’eyali omubaka wa Butalejja mu Palamenti, omugenzi Cerinah Nebanda, eyasibibwa emyaka ena (4) oluvannyuma lw’omusango gw’okutta Nebanda mu butanwa okumukka mu vvi, ajulidde.BYA ALICE NAMUTEBI

KKOOTI enkulu ewulidde okujulirwa kwa Adam Kalungi, eyali muganzi w’eyali omubaka wa Butalejja mu Palamenti, omugenzi Cerinah Nebanda, eyasibibwa emyaka ena (4) oluvannyuma lw’omusango gw’okutta Nebanda mu butanwa okumukka mu vvi.

Evans Ocheing munnamateeka wa Kalungi awakanya  eky'omulamuzi wa kkooti e Makindye, Esta Namabyo, okusingisa omuntu we omusango gw'okutta Nebanda mu butanwa, yategeezezza kkooti enkulu nti Kalungi yali telina buyinza na busobozi kujjanjaba mugenzi Nebanda kubanga ssi musawo mutendeke.

Ocheing yategeezezza omulamuzi Lameck Mukasa nti Kalungi yakola kyonna kye yali asobola okutaasa obulamu bwa Nebanda nga kino kye yoleka bwe yayita abasawo babari, abaagezaako okujjanjaba omugenzi.

Yagambye nti eky'okulemererwa kw'abasawo okutaasa obulamu bw’omugenzi tekitegeeza nti Kalungi ye yaviirako okufa kwe.

Kuno baagasseeko nti n’omulamuzi Nambayo yakola nsobi okumusingisa omusango kubanga mu nsala ye yagamba nti okufa kwa Nebanda kwava ku mwenge gwe yamuwa nga kino tosobola kukissa ku muntu yenna kubanga Nebanda yali asussa emyaka 18.

Nebanda yafa oluvannyuma lw’ebitundu eby'amaanyi mu mubiri gwe okulemererwa nga kino kyava ku mwenge saako n’enjaga ebyasangibwa mu mulambo.

Omulamuzi Esta Nambayo yasiba Kalungi emyaka 4 bwe yategeeza nti nga muganzi w’omugenzi, yalina obuvunaanyizibwa obw’okumulabirira wabula n'asalawo okumukuumira mu nnyumba ate nga yali mu mbeera mbi nnyo.

Kalungi eyavaako okufa kwa Nebanda ajulira leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...