
Bya DICKSON KULUMBA
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga agenze eggwanga lya United Arab Emirates kukung'aanya #Ettoffaali ly'ekizimbe Masangere mu Baganda ne Bannayuganda abakolera e Dubai.
Mayiga waakutukira ku kisaawe e Dubai asisinkane Bannayuganda oluvannyuma abatikkula #Ettoffaali ku mulimu gw’okukulakulanya Obuganda.
E Dubai agenda kwanirizibwa Ronnie Twasse, maneja wa Rapid Freight ne bammemba abalala abali mu nteekateeka y’okusonda #Ettoffaali .
Katikkiro asimbudde ku ssaawa mukaaga ng’asuubirwa okutuuka e Dubai ku ssaawa 10.
Awerekeddwako baminisita ba Buganda ne bammemba b’olukiiko lwa Buganda Twezimbe.
Ku baminisita abamuwerekedde kuliko; Dr. Ben Kiwanuka Mukwaya, Mariam Nkalubo Mayanja, Waggwa Nsibirwa, Omukungu avunaanyizibwa ku by’abagenyi e Mmengo, David Ntege n’omuwandiisi wa Katikkiro, Shifah Namubiru.
Ate abakungu ku lukiiko lwa Buganda Twezimbe kuliko: ssentebe John Fred Kiyimba Freeman n’omumyuka we, Julius Ssempala, Omuwanika Gaster Lule Ntakke, Emmanuel Ssembuusi Butebi, Fred Kasozi Mmamba, Hajjat Nanah Nalumansi ne Ronald Kirumira ( Bano be baasooseeyo ku Mmande), Mutaasa Kafeero, Janat Nakiyingi n’abalala ng'ekibinja kyonna awamu kya bantu 30.
Katikkiro agenze Dubai kusonda ssente z''Ettoffaali