TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okwewandiisa okufuna densite e Kayunga kuyimiriziddwa

Okwewandiisa okufuna densite e Kayunga kuyimiriziddwa

Added 22nd May 2014

OMULIMU gw’okuwandiisa abantu okufuna densite z’eggwanga e Kayunga guzzeemu omukoosi, abatuuze bwe batiisizza okuzira okwewandiisa ate mu bitundu ebimu okuwandiika ne kuyimirizibwa lwa butaba na kompyuta wamu ne kkamera ezikozesebwa.



BYA SAUL WOKULIRA

OMULIMU gw’okuwandiisa abantu okufuna densite z’eggwanga e Kayunga guzzeemu omukoosi, abatuuze bwe batiisizza okuzira okwewandiisa ate mu bitundu ebimu okuwandiika ne kuyimirizibwa lwa butaba na kompyuta wamu ne kkamera ezikozesebwa.

Abatuuze beemulugunya ku b’ofiisa abakola ogw’okubawandiika nti ebibakwatako babikyusakyusa ebimu ne babiwandiika kifuula nnenge!.

Bano baagambye nti abawandiisi babateekako ebika n’amawanga ebitali byabwe ekintu kye batidde nti bajja kufuna densite eziriko ebiwandiiko ekikyamu ebitali ebyo byenyini ebibakwatako.

Akulira omulimu gw’okwewandiisa mu disitulikiti y’e Kayunga, Ruth Nakacwa Kibuuka yagambye nti okuva okuwandiika lwe kwatandika abantu 12,416 bamaze okwewandiisa mu bujjuvu.

Yagambye nti Kayunga yafunye ebyuma omuli kompyuta, kkamera n’ebirala ebigenderako 41 kw’ebyo 82 ebyali byetaagibwa okubuna disitulikiti yonna.

Nakacwa yannyonnyodde nti mu bifo ebimu kompyuta gye zitannaba kutuuka basazeewo okwewandiisa bagira bakuyimiriza kugenda kuddamu amangu ddala nga ebyuma bifunise.

Twatuuseeko mu bifo ebimu gye beewandiisiza nga b’ofiisa abawandiika kompyuta ne kamera zibatawaanya kubanga ebiseera ebimu zeggyako zokka nga bakola ku bantu olwo ne batuula n’emikono ne bazinga.

Nakacwa yagambye nti mu bitundu ebimu okuwandiisa abantu kutandise okutambula obulungi kubanga b’ofiisa abaliyo batandise okukuguka n’omulimu okugumanyiira.

Okwewandiisa okufuna densite e Kayunga kuyimiriziddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...