TOP

Bbaasi paaka zissiddwaako obukwakkulizo

Added 23rd May 2014

AKUKULIRA poliisi y'ebidduka n'obutebenkevu ku nguudo mu ggwanga, Dr. Stephen Kasiima alagidde abaddukanya paaka za bbaasi mu ggwanga okuzissaako ebikomera okutaasa bakireereese okumala gaziyingiramu mu kaweefube okwetaasa ebikolwa by'obatujju.Bya Samuel Balagadde

AKUKULIRA poliisi y'ebidduka n'obutebenkevu ku nguudo mu ggwanga, Dr. Stephen Kasiima alagidde abaddukanya paaka za bbaasi  mu ggwanga okuzissaako ebikomera okutaasa bakireereese okumala gaziyingiramu mu kaweefube okwetaasa ebikolwa by'obatujju.

Bino Kasiima yabyogeredde ku Sheraton Hotel mu musomo ogwategekeddwa kkampuni y'amafuta eya Total eri bannannyini bbaasi n'abaziddukanya n'agamba nti waliwo obulagajjavu mu baddukanya paaka za bbaasi ng'essira basinga kulissa ku kusooloza nsimbi, eky'obulamu bw'abasaabaze ne batakitwala nga kikulu.

Kasiima yalagidde abaddukanya paaka okuwa yunifoomu okuli nnamba eri abo bonna abayita abasaabaze (Guides)  basobole okumanya bannakulalala abayinza okubekwekamu ne batta abasaabaze nga bwe guli mu nsi endala.

"Paaka za bbaasi ezimu zirina mpuku za babbi ne bakireereese nga buli ayagala amala gayingira nga tewali kwaza kwonna mu basaabaze wamu n'emigugu gyabwe. Abatujju bettanira nnyo ebifo omuli omugotteko n'abantu abangi nga ppaaka za bbaasi," Kasiima bwe yagambye.

Okusinziira ku mateeka agafuga paaka za bbaasi , zirina okubaamu ebifo abasaabaze we balindira bbaasi, ebifo omukyamirwamu ate nga biyonjo, we batereka ebintu singa baba baakutambula kiro, okuba nga bizingiddwaako mu kisaakate, obuuma obuzikiza omuliro n'ebirala.

Wabula Hon. Nathan Byanyima, eyali akiikirira Bukanga era ng'alina kkampuni ya bbaasi eya Ibabu Coaches yagambye nti okulwanyisa ebikolwa eby'ekitujju buvunaanyizibwa bwa buli muntu n'asaba bonna be kikwatako okulaba nga batuukiriza ebyo ebibasabiddwa.

Bbaasi paaka zisiddwaako obukwakkulizo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...