TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka mu Buganda basiimye Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa

Abavubuka mu Buganda basiimye Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa

Added 27th May 2014

ABAVUBUKA ba NRM okuva mu Buganda abakununkiriza mu 300 eggulo baasiibye mu kafubo ne Pulezidenti Yoweri Museveni gye baayisirizza ekiteeso eky’omusimbawo nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016.BYA AHMED KATEREGGA

ABAVUBUKA ba NRM okuva mu Buganda abakununkiriza mu 300 eggulo baasiibye mu kafubo ne Pulezidenti Yoweri Museveni gye baayisirizza ekiteeso eky’omusimbawo nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016.

Abavubuka bano abeepakidde mu bbaasi ttaano okuva ku kisaawe e Kololo ku ssaawa 12.00 ez’enkya (ku Mmande), baatuuse mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku ssaawa 1.00 era ne bayingizibwa munda.

Baakulembeddwamu omubaka w’abavubuka ba Buganda mu Palamenti, Patrick Nakabaale.

Kaweefube wa BUKEDDE okuyingira mu lukiiko luno yagudde butaka, abakuumi b’amaka g’Obwapulezidenti bwe baalemesezza bannamawulire nga bagamba nti lwabadde lwa kyama.

Wabula ensonda zaategeeezezza nti oluvannyuma lwa Pulezidenti okubannyonnyola ensonga eziwerako, ezaaviirako ebiteeso ebyayisibwa e Kyankwanzi omuli n’ensawo eziwerako abavubuka mwe bagenda okwewola ensimbi z’okwezimba, abavubuka bonna bassizza kimu nga nkuyege ne bamuwagira asimbibwewo NRM nga tavuganyiziddwa.

Pulezidenti okusisinkana abavubuka bano, yavudde butereevu e Koboko mu West Nile, awava omubaka Evelyn Anite (Ow'abavubuka e bukiika kkono), okujjukira eyaliko Sipiika wa Palamenti era Ssaabawabuzi wa Gavumenti mu by’amateeka, Mw. Francis Ayume, eyafiira mu kabenje ka mmotoka mu 2005.

Anite ye yaleeta ekiteeso ky'okusimbawo Museveni nga tavuganyiziddwa e Kyakwanzi gye buvuddeko.

Pulezidenti asuubirwa okusisinkana ekiseera kyonna n’abavubuka ba Kampala ababadde bakulirwa Adam Ruzindana eyaggyiddwaako, n’oluvannyuma asisinkane ab’obuvanjuba n’obugwanjuba awamu ne Karamojja.

Abavubuka mu Buganda basiimye Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....