TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte abawagizi ba Nabukenya abagambibwa okukola effujjo e Luweero

Poliisi ekutte abawagizi ba Nabukenya abagambibwa okukola effujjo e Luweero

Added 29th May 2014

Poliisi y''e Luweero ekutte n''eggalira abantu babiri ku bigambibwa nti beenyigira mu kukola effujjo mu kalulu k''e Luweero akawanguddwa munna DP Brenda Nabukenya.



Bya Culton Nakamya

Poliisi y'e Luweero ekutte n'eggalira abantu babiri ku bigambibwa nti beenyigira mu kukola effujjo mu kalulu k'e Luweero akawanguddwa munna DP Brenda Nabukenya.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekitwala Luweero, Lameka Kigozi, yategeezezza nti baakutte abateeberezebwa okuba abawagizi ba Nabukenya babiri okuli; Richard Katabira ne Julius Mayega abatuuze mu ggombolola y'e Kamira e Luweero.

Bano kigambibwa baakuba Steven Ssentumbwe, eyali kakuyege wa NRM mu ggombolola y'e Kamira ng'ayiggira Nalwanga akalulu.

Ssentumbwe agamba nti yawambibwa n'akubwa bubi nnyo abawagizi ba Nabukenya oluvannyuma ne bamusuula mu kibira ekimu e Kamira nga bamulanga okugabira abalonzi ssente ng'okulonda tekunnabaawo.

Kigozi yagambye nti abakwate bagenda kusimbibwa mu mbuga z'amateeka babitebye kuba baali tebalina lukusa na buyinza kukuba mulonzi munnaabwe.

Yannyonnyodde nti oluvannyuma lw'akalulu okuggwa obulungi, poliisi tegenda kuttira ku liiso muntu yenna eyeenyigira mu kukola effujjo ng'akululu tekannakubwa, n'agamba nti bonna abeenyigira mu ffujjo poliisi ebayigga.

Ebirala ku kalulu k'e Luweero...

Poliisi eyise Brenda Nabukenya ku by''abawagizi abaakola effujjo e Luweero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...