
Bya MAURICE KULABAKO
ne GODFREY SSEMPIJJA
EMPOOZA etabude abasuubuzi b’ebirime mukatale k’e Nakiwogo e Ntebe. Abasuubuzi b’ebirime bagamba nti abaakwata ttenda y’akatale kano, aba Ani Yalyamanyi Vendors Association ekulemberwa Sulayimani Mpimbo kabalemye okutereeza.
“Bbo bafa ku kimu kya kutuggyamu ssente naye ng’ebiruma abasuubuzi tebabifuddeeko, “ bwe baagambye.
Abasuubuzi nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Musa Kaweesi baategeezezza nti baatuula ne kkanso ne basalawo ku ngeri akatale gye kalian okutambuzibwamu.
Wabula abaagula ttenda ne baagaana okutuukiriza ebyava mu lukiiko. Ekitabudde abasuubuzi be balimi abava e Buwaya e baleeta ebirime e Ntebe ate mu kifo ky'okubiguza abasuubuzi ate babirenga bulenzi ne batandika okutundira awo ku mwalo.
Bakasitoma mu kifo ky'okugenda okugula ku basuubuzi ate bagula ku balimi olwo bbo abasuubuzi ebyabwe ne bivundira ku midaala, ekibaleetedde okugaana okusasula empooza.
Wabula ye omuwooza, Sam Kasirye yategeezezza nti si kyangu okugoba abalimi okugenda oba okubawa olunaku olumu mu wiiki kubanga bbo abaakwata ttenda ssente basinga kuzifuna mu balimi kubanga bbo tebalwawo nga batunda ate ne kkanso eyagala
ssente.
Empooza etabudde abasuubuzi b’akatale k’e Nakiwogo