Bya Rogers Kibirige ne Job Nantakiika
ABATEMU bayingiridde omutuuze w'e Kabumbi mu Nansana tawuni kanso ne bamutta mu bukambwe!
Israel Nyombi (30) abadde muvuzi wa takisi nnamba UAU 807Q ng'akolera ku siteegi y'e Nansana Wakiso ye yayingiriddwa abatemu mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga ne bamutta n'oluvannyuma ne bakuliita ne ttivvi.
Kitebeerezebwa nti waasoose kubaawo okulwanagana okwamaanyi kyokka abatemu ne bamusinza amaanyi ne bamukuba ejjinja ku mutwe ne bamutta.
Omulambo gwa Nyombi gwasangiddwa nga gugang'alamye mu kitaba ky'omusaayi mu mulyango gw'enju mw'abadde asula.
Nyombi yabadde mu ssaati y'omweso ng'erimu langi emmyufu n'enzirugavu nga ku ngulu ataddeko essweta ey'ebikuubo ne kikuusikuusi ng'ayambadde n'empale eya kkaki.
Abapoliisi n'embwa eyaleeteddwa okuwenja abatemu. Ekif: Rogers Kibirige
Omulambo gwe gwalabiddwa omu ku batuuze eyakubye enduulu eyasombodde ab'ekyalo abazze ne basanga nga Nyombi mufu wa jjo n'oluvannyuma ne bakubira ssentebe w'ekyalo, Bernerd Sserwadda, eyayise poliisi bunnambiro!.
Poliisi eyakulembeddwa akola ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Nansana, Cotilda Nandutu, yaleese embwa ekonga olusu n'etalaaga ekyalo kyokka bwe yatuuse ku kkubo n'eremera awo nga kiteeberezebwa nti abatemu we baalinyidde mmotoka oba bodaboda eyabatutte.
Omuzigo Nyombi we yatemuliddwa era w'abadde asula. Ekif: Rogers Kibirige
Omu ku baganda b'omugenzi, Godfrey Sserugo, yategeezezza nti baabaddeko n'omugenzi ku Lwokutaano akawungeezi ng'avudde ku mulimu era ne balya naye eky'eggulo ku 'Icon Club' era ye n'abalekawo nga balindirira okulaba omupiira.
Omutuuze Mike Mugabi yategeezezza nti okuva eyali OC w'e Nansana, Muhammad Kirumira, lwe yayimirizibwa ku mulimu, ekitundu ky'e Kabumbi ne kisengukiramu abamenyi b'amateeka bangi okuli abatemu, ababbi, abakubi b'obutayimbwa abasiiba nga banywa enjaga ate mu kiro ne badda mu batigomya abatuuze n'ebitundu by'emuliraano.
Muliranwa wa Nyombi ataayagadde kumwatuukiriza mannya ge yategeezezza nti abatemu baakozesezza mukazi kuba yawulidde eddoboozi ly'omukazi ng'amuyita mu kiro kyokka ebyaddiridde teyabitegedde.
Akola ku kunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Nansana. Cotilda Nandutu. yategeezezza nga bwe bagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD 09/14/06/14, ku kutemulwa kwa Nyombi era okunoonyereza ku batemu bano kukyagenda mu mu maaso okutuusa nga bagombeddwaamu obwala.
Nandutu yakakasizza nti gye buvuddeko Nyombi yagenda ku poliisi y'e Nansana n'aggulawo omusango ku bantu abaali bamutiisatiisa okumutta kyokka wayise ebbanga ttono ne bamutemula mu bukambwe.
Omutuuze w''e Nasansa bamusse mu bukambwe