
Bya Muwanga Kakooza
Omubaka wa disitulikiti y'e Luweero omukyala, Brenda Nabukenya alayiziddwa n’addamu okweddiza ekifo kye oluvannyuma lw’okumegga Nalwanga owa NRM mu kalulu akaddibwamu omwezi gwa March.
Nabukenya asoose kuwanda muliro ebweru wa Palamenti ng’ategeeza nga Pulezidenti Museveni bw’asaanidde okwesonyiwa eby’e Luweero kuba tekyasobola kuwangula wadde nga ekifo ky'omubaka bwa Palamenti.
‘’Pulezidenti Museveni yagamba nti twabba obululu naye ebyo byali bya kweyisaako butaswala kuba akimanyi twamuwangula. N’ebyokwogera nti e Luweero wuwe abiveeko kuba takyalina ky’asobola kuwangulayo,’’ Nabukenya bwe yagambye.
Yabadde addamu ebibuuzo bya bannamawulire abaamusoomoozezza okwogera ku byayogera Museveni nti obululu bwa NRM bwabbibwa e Luwero, ekyaletera omuntu waabwe, Rebecca Nalwanga okuwangulwa.
Nabukenya yasuubizza n’okulwanyisa ebitaagenda bulungi mu kusoma bajeti naddala emisolo egikosa abaavu.
Ebirala ku kalulu k'e Luweero...
Brenda Nabukenya alayiziddwa ku ky''omubaka w''e Luweero