TOP

Meddie yanziba lwakuba nnali muto - Bad Black

Added 25th June 2014

BAD Black alumirizza eyali muninkini we, Meddie Ssentongo nga bwe yamufera n’omukabiira ennaku olwo n''amuyiira ssente sso nga lwali lulenzi lulungi ate nga lumwagala ebitagambika.



 

Bya ALICE NAMUTEBI

Bad Black alumirizza eyali muninkini we, Meddie Ssentongo nga bwe yamukaabiranga ennaku n’ebizibu ebitaggwa olwo Black n’amuyiira ssente empitirivu.

Black yategeezezza kkooti y’ebyobusuubuzi nti ebbanga lyonna lye yamala ne Meddie Ssentongo oluvannyuma lw’okwawukana n’Omuzungu David Greenhalgh, Meddie yakozesa amagezi agaali gamwesera n’amusaba ssente ezitemera mu bukadde bwa doola 3.

“Meddie yantengula omutima kubanga nnali muto mu myaka ate nga ye mukulu okunsinga ate ng’ansinga n’obugezi era ssente zonna ze yansabanga nnali nzimuweerawo nga sisoose na kufaayo nti zali za bizinensi, gye twali tugguddewo n’omuzungu,” Bad Black bwe yategeezezza omulamuzi Henry Peter Adonyo.

Kuno Black yagasseeko nti ng’ogyeko endabika ya Meddie etengula omutima gye yali tasobola kwesonyiwa, Meddie yagattangako n’okumulimba nti ssente zonna z’amuwa agenda kuzigulamu ebizimbe bibeere mu mannya gaabwe bombi kyokka bino byakomanga ku mimwa kubanga buli kintu Meddie kye yakola yali akiteeka mu mannya ge.

Black n'Omuzungu nga bali mu ssanyu ku kkooti

Meddie okumulumiriza, yazze n’embooko y’omuwala obwedda atamuva ku lusegere wabula tetwategedde oba yabadde muninkini we oba y’omu ku bawolere be baatera okujja nabo ku kkooti. 

Black ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa okutuuka okulumiriza Meddie bwe baacakalanga nga balya ssente z’Omuzungu kiddiridde endagaano Black gye yakola n’Omuzungu ng’amuddiza ebimu ku bintu ebiri mu mannya ge ne ssente enkalu olwo Omuzungu David Greenhalgh n’amugyako omusango gw’engassi gwe yali amuvunaana ne Meddie Ssentongo.

Black nga yeemoola n'omuzungu. Ebifaananyi byonna bya Nickolas Oneal 

Omuzungu bakira eyeeyisa ne Bad Black yasigala avunaana Meddie era natuuka n’okubowa amayumba ge ne akawunti ze ng’ayagala kkooti emusingise omusango era amuliyirire obuwumbi obusoba mu 12 ze yamubba.

Omusango guddamu nga July 8, 2014.

 

Meddie yanziba lwakuba nnali muto - Bad Black

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...