
Bya Deborah Nanfuka
OMUYIZI Francis Kibirige ,19, eyakubiddwa essasi mu kifuba nga balaba emisinde e Jinja asiibuddwa mu ddwaaliro e Mulago.
Kibirige asoma P.6 mu Lucilla Disabled School yabadde ajjanjabibwa abasawo mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw'abaserikale ba poliisi okusindirira amasasi mu bayizi wiiki bbiri eziyise e Jinja ne gattirawo Rashid Ntale 13, eyabadde asoma P7 mu Nakanyonyi Primary ate Kibirige n'abuuka n'ebisago mu kifuba.
Paul Musisi, kitaawe yategeezezza nti yasiibuddwa ng'akubye ku matu era ng'alya bulungi ne yeebaza poliisi okubawa obuyambi.
Abaserikale; Patrick Nuwagaba, Julian Mucunguzi ne Alex Waikubi, akulira Poliisi mu ggwanga, Kale Kayihura yalagidde bakwatibwe oluvannyuma lw'okubuuliriza ne kizuulwa nga baakubye amasasi mu bayizi okuva mu masomero 23 bwe baabadde bakung’aanye ku kisaawe e Bugembe mu mpaka z’emisinde.
Bano bagguddwaako omusango gw'obutemu.
Ebirala..
Omuyizi eyakubiddwa essaasi e Jinja bamusiibudde