TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi alemedde ku kkooti: Ayagala mutabani be ayimbulwe

Omukazi alemedde ku kkooti: Ayagala mutabani be ayimbulwe

Added 3rd July 2014

OMUKAZI alemedde ku kkooti e Kira n’atiisatiisa okweyambulira omulamuzi lwa kuvunaana mutabani we omusango gw’agamba nti si mutuufu.RUTH FAITH NAKANWAGI 

OMUKAZI alemedde ku kkooti e Kira n’atiisatiisa okweyambulira omulamuzi lwa kuvunaana mutabani we omusango gw’agamba nti si mutuufu.

Suzan Nampala, 42, omutuuze w'e Kireka yasangiddwa ku kkooti e Kira ng'ajula kweyambulira ngoye mu maaso g’omulazi, Steven Komakech, gw’agamba nti yasomedde mutabani we omusango ogwawukana n’ogwo poliisi gwe yamulanga ng’emuggalira.

Nampala yagambye nti mutabani we, Robert Mukaaga, poliisi y'e  Kireka yamuggalira mu kaduukulu ka okumala wiiki bbiri kyokka buli lwe yagendangayo okumulambula n’okubuuza abaserikale omusango oguvunaanibwa Mukaaga nga bamuwoleraza kimu nti yasangibwa n’enjaga. Wabula bwe yatuuse mu maaso g’omulamuzi, kyamubuuseeko okuwulira ng’ate mutabani we bamusomera musango gwa kutta muntu.

Nampala eyabadde tasalikako musale yagambye nti Mukaaga akyali mwana muto atannaweza na myaka 18 bamuvunaana batya ogw’obutemu ne batuuka n'okumusibira mu kaduukulu ke kamu n’abasajja abakulu abaggalirwa olw'okuzza emisango gy'obutemu mu kkomera e Luzira!

‘Yatta ani? Omwana wange agasajja agakulu galabika gaatandise na dda okumuyingiza mu mpisa embi ezibeera mu kkomera,’’ Nampala bakira bw'gamba.

Yagambye nti ssi mumativu olw’engeri gye bakuttemu omusango guno n’asaba poliisi emuyambeko okutangaaza kkooti omusango omutuufu ogwaviirako Mukaaga okuggalirwa. 

Omukazi almedde ku kkooti: Ayagala mutabani be ayimbulwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...