TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka alonze amyuka Cansala wa Muteesa 1 Royal University omuggya

Kabaka alonze amyuka Cansala wa Muteesa 1 Royal University omuggya

Added 4th July 2014

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alonze Polof. Dr. Arthur Serwanga okubeera omumyuka wa Cansala wa Muteesa I Royal University ng’adda mu bigere bya Polof. Elisha Ssemakula eyawummula.



 BYA BENJMAIN SSEBAGGALA 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alonze Polof. Dr. Arthur Serwanga okubeera omumyuka wa Cansala wa Muteesa I Royal University ng’adda mu bigere bya Polof. Elisha Ssemakula eyawummula.

Omwogezi wa yunivasite eno, Siraje Kizito, yategeezezza Bukedde Online nti Polof. Serwanga yakakasiddwa mu kifo kino ku ntandikwa y’omwezi guno era n’atandikirawo emirimu.

Ebitonotono ku Polof. Serwanga

  • Serwanga y’abadde akulira ettendekero ly’ebyenfuna mu yunivaasite y’ebyobusuubuzi eya MUBS e Nakawa.
  • Abadde mu buweereza okumala emyaka 20 ng'akola ku pulozekiti ez’enjawulo.
  • Musomesa mutendeka era awandiise obutabo obwenjawulo.
  • Yakuguka mu byanfuna era diguli eyasooka yagifuna mu byanfuna mu yunivasite e Makerere.
  • Alina diguli eyookubiri mu kubala ebitabo.
  • Alina diguli eyookusatu mu by'okusiga ensimbi n’okutandikawo emirimu (Entreprenuership)
  • Alina dipuloma mu busomesa okuva mu yunivaasite y'e Kyambogo.

Yunivasite eno ekitebe kyayo ekikuli kiri Kirumba -  Masaka naye erina n’ettabi e Kakeeka - Mengo. Ekifo kibadde kikuumibwa abadde akola ng’omumyuka wa Cansala, Polof. Kigongo Bukenya.

Kabaka alonze amyuka Cansala wa Muteesa 1 Royal University omuggya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.