
Bya Henry Kasomoko
ABAYIZI b’essomero lya Buddo Junior school “Kabinja” elyajja omuliro mu mwaka gwa 2008 basonda ssente ez’okumaliriza ebimu ku kizimbe bye ssomero okusobola okulwanyisa omujjuzo ogususse ku ssomero lino.
Ku mukolo ogwategekeddwa ku wooteri ya Africana mu Kampala , omukulu w’essomero lino Ernest Kavulu yategeezezza nti beetaaga obukadde 660 okusobola okumaliriza ekizimbe galikwoleka ekigenda okubeera ekya kalina .
Kavulu yagambye nti baakasonda obukadde obusobla mu 300 naye nga bakyetagga ssente endala okusobola okutambuza obulungi omulimu gw’okuzimba ekizimbe kino ekigenda okuyambako essomero okumalawo omujjuzo ogubadde gususse ku ssomero lino.
Omukolo guno gwatandise n’okukumba okwakulembeddwamu omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi eyawaddeyo obukadde 10 okusobola okuyambako mu ku ddukanya omulimu gw’okuzimba nabasuubizza okubongera.
Abalala bawaddeyo kwabaddeko, Ssentebe wa Wakiso Matia Lwanga Bwanika eyawaddeyo obukadde 2 nategeeza ng’essomero lino bweryasonyibwa omusolo ogusoba mu bukadde 10 okusobola okuliyamba okwezzaawo oluvannyuma lw’enjega ya 2008 eyafiiramu n’abayizi abaasoba mu 20.
Abalala kwabaddeko Olara Otunnu eyawaddeyo emitwalo 20, omubaka Ssozi Kaddu Mukasa (Mityana South) mitwalo 10, ab’e Namirembe obukadde 2 nabalala.
Ssekandi yakubirizza abantu okuyambako mu kuddukirira essomero lino nategeeza abantu okuwaayo konna kebalina omulimu gwokuzimba ekizimbe kino gusobole okwanguwa kisobozese abaana okusomera mu kifo omutali mujjuzo
Ku mukolo guno obukadde obusoba mu 50 bwe bwasondeddwa nga buno bugenda kwongera ku buli 300 obwasooka kino kisobozese omulimu okwanguwa.
Aba Buddo Junior basonze okuzzaawo ebizimbe ebyaggya