TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali Owessaza bimusobedde mu musango gwa Meddie Ssentongo

Eyali Owessaza bimusobedde mu musango gwa Meddie Ssentongo

Added 10th July 2014

EYALI omwami w’essaza ly’e Busiro, PK Ssengendo bamusoyezza ebibuuzo n’atuuka okuva mu kkooti nga bimutabudde.



Bya Martin Ndijjo

EYALI omwami w’essaza ly’e Busiro, PK Ssengendo bamusoyezza ebibuuzo n’atuuka
okuva mu kkooti nga bimutabudde.

Ssengendo, omukugu mu kubala ebitabo, yabadde mu kkooti y’ebyobusuubuzi ku Lwokubiri era nga ye mujulizi owookusatu mu musango Omuzungu David Greenhalgh, muganzi wa Bad Black, mwavunaanira Meddie Ssentongo gw’ayagala aliwe obuwumbi 9 lwa kubba byabugagga bwe.

Ssengendo yagezezzaako okunnyonyola obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa Adrian Mubiru (eyali looya w’Omuzungu) ng’amupangisizza okubala ebitabo bya kkampuni ya Davishan (eya Greenhalgh ne Black).

Obuzibu bwavudde ku lipooti gye yawaddeyo mu kkooti okulaga nga Ssentongo bw’amanyi ku mayitire ga ssente za kkampuni eno ezaabulankanyizibwa kyokka nga talina bujulizi bulaga nkolagana yonna Ssentongo gye yalina na kkampuni ne we baamuweera ku ssente.

Wano Isaac Walukagga, looya wa Ssentongo we yasinzidde okumubuuza akana n’akataano
ng’ayagala alage obukakafu n’agattako n’okumubuuza oba ddala omusajja ow’emyaka 74 (egya Ssengendo) amaze emyaka 40 mu mulimu guno,

by’akola abitegeera! Looya w’Omuzungu, Alfred Okello Oryem ye yagezezzaako okutaasa Ssengendo bwe yayambalidde Walukagga nti ebibuuzo ebimu tebiri ku mulamwa ayagala kutabula butabuzi mujulizi we ng’eno omulamuzi Henry Peter Adonyo bw’abakkakkanya. Omusango guddamu nga September 1, 2014.

Eyali Owessaza bimusobedde mu musango gwa Meddie Ssentongo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...