TOP

Gavumenti eyongezza omusolo ku bidduka

Added 11th July 2014

GAVUMENTI erinnyisizza omusolo gw’ebidduka okutandika n’omwaka gw’ebyensimbi guno okuli ogwa bodaboda, loole, takisi n’emmotoka ezaabuyonjo.Bya Benjamin Ssebaggala

GAVUMENTI erinnyisizza omusolo gw’ebidduka okutandika n’omwaka gw’ebyensimbi guno okuli ogwa bodaboda, loole, takisi n’emmotoka ezaabuyonjo.

Emiwendo emiggya egya buli mwaka kuliko: ttakisi evudde ku 125,000/- kati esasula 153,000/-, bodabooda evudde ku 40,000/- wabula nga zirimu emitendera; waliwo ezigenda okusasula 46,000/- okutuuka ku 53,000/- okusinziira ku bunene bwa yingini.

Mmotoka eyabuyonjo nga Saloon etikka abantu 5 evudde ku 63,000/- okudda ku 68,000/-, endala ezaabuyonjo ezitikka abantu okutuuka ku 14 nga tezikola takisi kati esasula 78,000/-. 

Kabangali etandikirwako nga Sahara oba bu lukumi mu bibiri kavudde ku 60,000 kati esasula 67,000/- kyokka zigenda zirinnya nga ku Sahara, n’eziddirira okutuuka ku 90,000/- . Loole okuli Elef, Ttipa Forward, Fuso, Tata ne loole ezigwa mu kiti kino zisasula okuva ku 114,000/- okutuuka ku 192,000/-

 Bbaasi etikka abantu 60 evudde ku 352,000/- kati esasula 480,000/- Coaster esembayo obunene  yakusasula  227,000/-  era n’ebika bya mmotoka ebyenjawulo zongezeddwa.

Okwongeza sente zino kizze nga waakayita omwaka gumu okuva gavumenti lwe yayongeza omusolo gwa Stamp Duty mu mwaka gw’ebyensimbi 2013/2014.

 Amateeka ga Uganda galagira ku bidduka okusasula yinsuwa ya 3rd Party ey’obuwaze ku bidduka eby’obwannannyini, ebyebitongole n’ebirala ebikozesebwa emirimu gy’obusuubuzi kyokka tekwata ku mmotoka za Gavumenti.  

Omukugu mu kibiina ekigatta kkampuni za Yinsuwa mu ggwanga ekya Uganda Insurers Association (UIA) Nasser Matovu yagambye nti yinsuwa ya 3rd party ekoma ku kuliyirira abeera afudde oba alumiziddwa ng’ekidduka kifunye akabenje kyokka teriyirira bintu birala byonoonekedde mu kabenje ako okuli n’ekidduka kyennyini.

Ayongerako nti sitiika za yinsuwa ku mitendera egy’enjawulo zaakyusiddwa mu ndabika okutangira okuzijingirira kyokka ng’ebidduka ebikyaliko enkadde zikyakola okutuusa nga bannannyini byo bazzeeyo ne bazizza buggya.

GAVUMENTI EWEZE EZAAFULUMA MU 2006 OKUDDA EMABEGA
Gavumenti egambye nti okutandika n’omwaka ogujja egenda kukkiriza mmotoka zokka ezaakolebwa okuva 2007 okutuusa kati. Tegenda kuddamu kukkiriza basuubuzi kuyingiza mmotoka nkadde zitali za kiseera ekyo.

Akulira NEMA, Dr. Tom Okurut bino yabitegeerezza mu kakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu n’agamba nti mmotoka enkadde ezivugibwa mu ggwanga ze zisinze okuvaako okwonoona empewo kubanga omukka gwe zifulumya gwa butwa.

Yagambye nti mu kiseera kino, URA emmotoka enkadde eziggyako omusolo gwa bitundu 20 ku 100 ng’enkola eno gavumenti yali yaakuyambako kuziyiza kuyingiza mmotoka enkadde ennyo mu ggwanga kyokka kati basazeewo kuziwera.

“Tetuyinza kuddamu kukkiriza mmotoka ezaakolebwa mu 1990 okuyingira mu ggwanga. Oyo tekinologiya mukadde nnyo avaako okukosa obulamu bwa Bannayuganda n’obutonde bwensi” Dr. Okurut bwe yaggumizza.

Yayongeddeko nti omukka omucaafu, ogw’obutwa ogwonoona empewo abantu gye bassa mu Kampala ogusinga guva mu mmotoka enkadde ezeetaaga okuwera mangu.

GAVUMENTI ESAAGA – BASUUBUZI BA MMOTOKA
Abasuubuzi ba mmotoka baategeezezza mu New Vision eyafulumye ku Lwokuna nti Bannayuganda tebasobola kugula mmotoka ezaakolebwa okuva 2007 okutuusa kati kubanga za buseere era babuusabuusa oba ekiragiro kino gavumenti eneekiteeka mu nkola kubanga emmotoka enkadde ezifunako omusolo mungi.

Bw’oba olina ky’oyogera ku musolo ogwongezeddwa ku yinsuwa z’emmotoka, genda mu ssimu yo w’owandiikira obubaka owandiike ekigambo AMAWULIRE, teekako erinnya lyo, oweereze ku 8338. Mu ngeri y’emu, tuwe endowooza yo ku mukutu gwaffe ogwa Bukedde ku facebook: www.facebook.com/bukedde.ug


Gavumenti eyongezza omusolo ku bidduka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...