TOP

Abavubuka 39 bayooleddwa e Masaka

Added 16th July 2014

POLIISI e Masaka eyakulembeddwaamu omuduumizi waayo, Henry Kavuma yakoze ekikwekweto mu kiro kya Mmande n’ekwata abavubuka 39 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka.



Bya PHIONA NANYOMO

POLIISI e Masaka eyakulembeddwaamu omuduumizi waayo, Henry Kavuma yakoze ekikwekweto mu kiro kya Mmande n’ekwata abavubuka 39 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka.

Ekikwekweto kyakoleddwa mu kabuga k’e Nyendo, Masaka Town, Kimaanya ne Kyabakuza
oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu eri poliisi ku babatigomya ekiro.

Mu baakwatiddwa kuliko n’abooluganda Sayidi Paneamu ne munne Ramathan Sseguya ab’omu Kataffali mu ggombolola ya Kimaanya Kyabakuza, abaasangiddwa n’enjaga n’ebyuma ebikozesebwa mu kumenya amayumba n’ebisumuluzo ebiggula buli kika kya kkufulu.

Poliisi era yakutte n’abaana abato 11 mu kabuga k’e Nyendo abasangiddwa ku mbalaza z’amaduuka
nga beebase era enoonya bazadde baabwe.

Kavuma yategeezezza nti abaakwatiddwa bagguddwaako emisango ku fayiro SD/04/14.

Abavubuka 39 bayooleddwa e Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...