TOP

Makerere beeremye ku bisale ebipya

Added 17th July 2014

ABAKULIRA Yunivasite y’e Makerere bagugubye ku ky’okwongeza ebisale by’abayizi ne bategeeza nti ebintu byonna mu ggwanga birinnye emiwendo nabo balina okwogeza ssente okusobola okufuna ebyetaago.



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

ABAKULIRA Yunivasite y’e Makerere bagugubye ku ky’okwongeza ebisale by’abayizi ne bategeeza nti ebintu byonna mu ggwanga birinnye emiwendo nabo balina okwogeza ssente okusobola okufuna ebyetaago.

Omwogezi wa yunivasite Ritah Namisango yagambye nti okwo geza ebisale kigenda kukola ku bayizi abapya bokka okutandikira kw’abo abayingira mu mwaka gwa 2014/2015 bo abakadde ababaddeyo bagenda kusigala nga basasula nga ze baasasula omwaka oguwedde.

Makerere yayongezezza ebitundu 10 ku 100 ku bisale ebikadde ebibaddewo ku bayizi bannansi n’abagwira nga kati omuyizi Munnayuganda asoma obusawo abadde asasula 1,344, 000/- waakusasula 1,478,400/- ate Omugwira abadde asasula 2,240,000/- waakusasula 2,464,000/- buli lusoma gye mirundi ebiri mu mwaka.

Omuyizi asoma ebyobulambuzi abadde asasula 700,000/- kati waakusasula 770,000/- , asoma Obusomesa abadde asasula 672,000/- agenda kusasula 739,200/-.

Makerere ebadde yasemba okwongeza ebisale mu 2006. Olukiiko olufuzi olwa yunivasite olwatudde nga February 19, 2014 lwe lwayisizza enkola eno gye balina okuteeka mu nkola okutandika  n’omwaka gw’ebyensoma omupya mu lusoma oluggulawo nga August 16, 2014.

Abakulira Makerere tebaakomye ku kyakwongeza bisale kyokka, baggyewo okufumbira abayizi emmere abasasulirwa gavumenti abasula mu bisulo bya yunivasite ne bategeeza nti bagenda kubawanga 4,000/- buli lunaku beesasulire emmere.

Kino kyaviiriddeko abayizi okwekalakaasa ku Mmande ensonga amyuka Cansala, Polof. John Ddumba Sentamu n’aziyingiramu ne bategeeza nti eky’okuwa abayizi ssente bakiggyewo bagenda kubawa mmere kyokka Makerere ng’esigala yeggyeko obuvunaanyizibwa bw’okufumba ng’ebukwasa kkampuni z’obwannannyini ze ziba zifumba.

Makerere beeremye ku bisale ebipya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...