
Bya Moses Lemisa
ABAVUBUKA b’ekibiina kya NRM baalumbye RCC atwala Kawempe ne bamusaba ababuulire lwaki bo balinga abeerabirwa.
Ku Lwokusatu, abavubuka abeegattira mu kibiina kya NRM Youth Cooperation mu Kawempe abaakulembeddwaamu ssentebe waabwe Edward Ssemakula
baagenze ewa RCC Mercy Nabukenya nga bagamba nti ebintu bingi ebifa mu kibiina kye bawagira naye ne batamanya.
Baanokoddeyo ebikwata ku ssente z’abavubuka nti bo tebalina kye bamanyi kigenda mumaaso.
Wabula Nabukenya yasabye abavubuka bano okukomya okusaba Gavumenti ssente nga tebalina kye basoose kukola, yagambye nti kiba kyangu omuntu okukusika omukono ng’alina w’atandikira. Kyokka abavubuka bano baategeezezza nti mu kibiina kyabwe mulimu abantu abaagala okwekkusa bokka ne beerabira abalala.
Wano we baamutumidde ewa Pulezidenti Yoweri Museveni amutegeeze ku nsonga zaabwe ezibaluma.
Abavubuka ba NRM bazinze RCC wa Kawempe