TOP

Famire ya Juliana emugaanyi okuddira Amon

Added 29th July 2014

ABA famire ya Juliana batuuzizza olukiiko bukubirire ne bamulabula obutaddira musajja Amon Lukwago, gwe bagamba nti yatandise dda okwekukuutiriza ku muwala waabwe.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE RONALD MUBIRU

ABA famire ya Juliana batuuzizza olukiiko bukubirire ne bamulabula obutaddira musajja Amon Lukwago, gwe bagamba nti yatandise dda okwekukuutiriza ku muwala waabwe.

Okuziika omwana Keron Raphael Kabugo olwawedde ku Lwokutaano, kkojja w’omuyimbi Juliana, eyayanjuddwa nga Prince David n’asisinkana aba famire mu lukiiko olwamaze eddakiika nga 30 mu maka ga Juliana e Lungujja mu Kampala nga lwogera ku ngeri Juliana gy’alina okubudaabudibwa oluvannyuma lw’okufiirwa omwana we omu yekka.

Abamu ku ba famire ng’abasinga baavudde Fort Portal wano we baaleetedde okutya kwe baafunye ku musajja Amon, abadde taata w’omwana nga bagamba nti by’akola byonna biraga nti ayagala kukuba kaddannyuma, ekintu kye batakkaanya nakyo.

Muzeeyi Kabugo (ku kkono) ne mutabani we Amon Lukwago e Kawuku eggulo.

Baawadde ensonga mukaaga kwe basinziira okugaana muwala waabwe obutaddira Amon era baazisengese bwe bati:
1. Amon alina mukazi we amanyiddwa nga Liz gwe yassa mu bizinensi y’ebbaala gye yakola e Masindi, era Juliana aba waakuttunka ne mukazimuggya.

Baagasseeko nti ku mikolo gy’okukungubaga gyonna, Liz obwedda ‘alunda’ Amon nga tamuggyaako maaso nga yeekengera nti ayinza okukozesa omukisa guno okudda ewa Juliana.

2. Musajja wa kasunguyira, ava mangu mu mbeera era baamulumirizza okutabukira abamu ku booluganda lwa Juliana wakati mu kukungubaga ng’entabwe eva ku mabugo.

3. Okuwumula amatu nayo baagiwadde ng’ensonga nti kifeebya ekitiibwa ky’omusajja agwanira muwala waabwe, bakira gwe boogerako nga “Omubiitokati”, ekitegeeza Omumbejja mu Bukama bwa Toro, gy’ava.

4. Baakimutaddeko nti abadde takola kimala mu ndabirira y’omwana Keron, nga yandiba nti si taata mulungi.

5. Baagasseeko nti Amon okwawukana ne muwala waabwe tewaali nsonga wabula yamulekawo bulesi n’addayo ku kyeyo ekiraga nti ne bwe badding'ana, asobola okumulekawo ogwokubiri n’addamu okumumenya omutima, eky’okumukola obubi naddala mu kiseera kino ng’omwana kw’abadde agumira,
Mukama yamuyise.

6. Enkolagana ya famire ya Juliana n’eya Muzeeyi Misuseera Kabugo, azaala Amon, nayo baagyogeddeko ng’entono, ekiyinza okukalubya obufumbo bwa Juliana ne Amon singa baddihhana.

Juliana weetaaga omwami akukwata nga bbebi
Baawunzise balabula Juliana nti wadde bakimanyi nti muntu mukulu eyeesalirawo naddala mu by’omukwano, mu kiti kyabwe ekya “Eriiso ly’omukulu awaddugala we walaba”, tebasemba kya kuddira Amon.

Era baamusabye okwetegereza ennyo omusajja gw’anaddamu okufuna kuba ebizibu by’ayiseemu yeetaaga omwami anaamukwata nga “bbebi”.

Baamuwadde n’amagezi okugenda mu malwaliro awali ababudaabuda abantu, kyokka ne bamusiima olw’okuguma wakati mu kukungubagira omwana we.

Obwedda boogera bino byonna nga Juliana atudde bbali ne muganda we, Laura Kahunda bakira amuddaabiriza era mu kuwunzika yabuuziddwa oba alina ky’agala okwanukula ku byogeddwa, n’anyeenya omutwe ng’alaga nti talina ky’ayogera.

Olwomukaaga ne Ssande, Juliana yazimaze wuwe e Lungujja ng’asisinkana abantu balondemu.

Juliana yasisinkana Amon mu 1999 ng’omuwala akyali muyimbi wa “kaliyoki” ne baagalana nga Roger Mugisha, eyali amanyiddwa nga DJ Shadow ye kayungirizi okukkakkana ne bazaala Keron mu 2003.

Obutakwatagana bwabwe bwatandika Juliana ali lubuto era wano we yafulumiza n’oluyimba “Nnabikoowa…”

Enkolagana yange ne Juliana kyama kyaffe- Amon
Amon, eyasangiddwa mu maka ga kitaawe e Kawuku, Ggaba mu Kampala eggulo, yagambye nti yeebaza Juliana.

Yamukoze bulungi okuguma ng’omukyala omunywevu mu kaseera k’okufiirwa mutabani waabwe.

Yagambye nti enkolagana ye ne Juliana kyama kyabwe babiri kuba ne bwe baali basiimagana mu kusooka, baakikkaanyaako babiri kubanga bombi bantu bakulu abamanyi kye baagala.

Yagambye nti abadde afaayo nnyo eri Keron era yali ayagala kumutwala Bungereza gy’aba asomera kyokka Muzeeyi Kabugo n’agaana nti alina okusomera kuno ayige Oluganda amanye n’obuwangwa bwa Buganda.

Muzeeyi Kabugo yagasseeko nti Keron gw’abadde yalonda okubeera omusika we era ng’ayagala akuzibwe mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa etuukana n’ekifo ekyo; kyokka Katonda ng’alina enteekateeka ndala. Nti wano we yasinziira n’okumuwa erinnya lye lyennyini ‘Kabugo’.

Amon yagambye nti ng’ali ne Juliana, balina enteekateeka okutandikawo ekibiina kye bagenda okutuuma Keron Foundation okuyamba abaana abalina ‘Asima’ nga kibafunira obujjanjabi baleme kufiira mu maanyi nga Keron, eyafudde ku myaka 11.

Yagambye nti kyamwewuunyisizza ng’omwana we atuuse mu mbeera enzibu ne babasindika e Nairobi, ekiraga nti weetaagisaawo eddwaaliro eririmu buli kyuma n’abakugu ab’amaanyi mu kujjanjaba ‘Asima’.

Enkolagana ya Kuliana ne Amon eva wa?

Omwana wa Juliana Kanyomozi afudde

JULIANA; Omwana wange nnamutwala mmusitudde nkomezaawo mulambo

OKUZIIKA OMWANA WA JULIANA; Basonze obukadde 50 mu mabugo

Juliana ayiiyizza oluyimba okusiibula omwana we

Taata w'omwana wa Juliana akikoze; Amwetondedde

Omwana wa Juliana aziikiddwa wakati mu kiyongobero

Famire ya Juliana emugaanyi okuddira Amon

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...