
Bya DONALD KIIRYA
POLIISI eyungudde abakugu okuva e Ntebe mu kaweefube w’okuzuula omulambo gw’omwogezi w’eddwaaliro ly’e Lubanga, Joan Twizere Umimana 25, eyagudde mu mazzi ku biyiriro by’e Itanda Butagaya e Jinja ku Ssande.
Aduumira poliisi mu bukiikakkono bwa Kiira Samuel Madira yategeezezza nti abakugu ba lubbira eggulo baatuuse ku biyiriro ne bongera amaanyi mu kunoonya omulambo gwa Twizere. Abadde muwala wa Dr. Matias Habirule ow’e Mulago ne Pasikazia Nyiransaba omusomesa wa siniya nga b’e Kikaaya B Kisaasi.
Kigambibwa Twizere yakedde ku Ssande n’atwala nnyina ku kkanisa olwo ye n’ayolekera e Jinja ne mikwano gye Herman Katanda omuyizi mu st. James e Jinja okulambula ne balinnya mu lyato okwekuba ebifaananyi kyokka eyabadde abakuba bwe yaseeredde okugwa mu mazzi Twizere n’agezaako okumubaka bombi ne bagwamu oluvannyuma mukwano gwe baamunnyuludde.
Akulira eddwaaliro ly’e Lubaga, Dr. Peter Kibuuka yategeezezza New Vision nti yasembye okulaba Twizere ku Lwokutaano nga bateeka emikono ku ndagaano ne kkampuni ezimba mu ddwaaliro n’akuba ebifaananyi bingi era y’abadde akulira pulojekiti eno ey’okuzimba n’okuginoonyeza ensimbi. Twizere yazaalibwa April 12, 1989 e Kololo.
- Yasoma mawulire n’attikirwa mu 2012 e Makerere.
- Yaweebwa omulimu gw’okwogerera eddwaliro ly’e Lubaga omwaka oguwedde.
- W’afiiridde nga baakamukakasa okubeera omukozi omujjuvu.
Bakyanoonya omulambo gw’omukozi w’eddwaaliro ly’e Lubaga