TOP

Omusolo ku mobile money ne bbanka gutandise

Added 3rd August 2014

BANNAYUGANDA mwesibe bbiri munywere olw’emisolo emipya egyassibwa mu bajeti egitandise okukaabya abantu akayirigombe. Emiwendo gy’ebintu girinnye wonna mu butale.



Bya ANTHONY SSEMPEREZA

BANNAYUGANDA mwesibe bbiri munywere olw’emisolo emipya egyassibwa mu bajeti egitandise okukaabya abantu akayirigombe. Emiwendo gy’ebintu girinnye wonna mu butale.

Kkampuni z'amasimu nazo emisolo gyazo gitandise ne 'Mobile Money' bwe kiri.

Ekiseera ky'ekimu n’abakulira obutale wonna mu Kampala baatudde ne bagereka emisolo emipya ku bintu byonna ebiyingira obutale era emisolo gyabwe gitandise okukola omwezi guno.

Embeera eno etandise okunyiga abantu mu byefuna, n’abantu abamu okulemwa okufuna ekyokulya olw'emiwendo gy’emmere okulinnya.

Alondoola ebyobutale mu Kampala Haji Mohammed Mugumya agambye nti, twatudde n’abakulira obutale obw'enjawulo ne tussawo emisolo emiggya ku bintu ebiyingira mu butale mu Kampala era gino gye misolo emipya nga bwe giyimirdde kati;

1 Buli nkoko eyingira mu katale esoloozebwako 500/- evudde ku 200/-.
2 Enkota y’ettooke evudde ku 200/- kati 500/-.
3 Enkota ya ffene evudde 200/- kati 500/-.
4 Ensawo y’obummonde evudde 500/- kati 1,000/-
5 Ebikajjo kaloole kavudde 20,000/- kati 30,000/-.
6 Obutunda ensawo evudde ku 1,000/- kati 2,000/-
7 Ekinywa ky'endagala kivudde 1,500/- kati 2,000/-.
8 Amanda ensawo evudde ku 1,000/- kati 1,500/-.
9 Akakota ka ssukaalindiizi kavudde ku 200/- kati 300/-.
10 Enkota ya bbogoya evudde ku 300/- kati 500/-.
11 Endebe ya lumonde omuganda evudde ku 300/- kati 500/-.
12 Bokisi y'ennyaanya evudde ku 1000/- kati 1,500/-.
13 Ensawo y’emboga evudde ku 1,000/- kati 1,500/-.
14 Enva endiirwa ekinywa ekinene kivudde ku 1,500/- kati 2,000/-.
15 Emiyembe bbokisi evudde ku 300/- kati 500/-.
16 Ennaanansi Sahara evudde ku 5,000/- kati 10,000/-.
17 Ennyama kati evudde ku 7,000/- kati 8,000/-.

KU MOBILE MONEY
Ensimbi z’ogenda okusasula ng'okozesa 'Mobile Money' ze zino;

Justine Tabgoba omwogezi w’ekitongole kya MTN agambye nti, omusolo ku kuggyayo ssente za ‘Mobile Money’ gwayongezebwa mu bajeti ya Uganda, kati ensimbi z’osalibwako ng'oggayo zaateeredwa mu nkola okuva August 1, 2014.

Ensimbi ezogenzeddwa ziri ebitundu 10 ku 100. Gino gy'emiwendo emipya nga bwe giri okusinziira ku kipande kya MTN ekipya.

Enkoko eggyibwako nnusu 500 buli eyingira e Kampala

Okuggyayo ku MTN:
5,001 - 15,000/- ziri 1,100/-.
15,001/- - 30,000/- ziri 1,100/-.
30,001/- - 45,000/- ziri 1,320/-.
60,0001/- - 125,000/- ziri 2,035/-
125,001/- 250,000/- ziri 3,795/-.
250,0001/ - ne 500,000/- ziri 6325/-.
500,000/- ne 1000,000/- kati 11,385/-.

Ye avunanyizibwa ku nsonga y'emu mu Airtel, Noor Kanyike agambye nti, omusolo guno gutandise August, 1, 2014, era gwa bitundu 10 ku 100 nga zino zassiddwa ku nsimbi enkadde ezibadde ziggyibwako.

Ate Christine Wawulira avunaanyizibwa ku nsonga za bakasitoma mu Airtel, agambye nti, omusolo gw’okukuba essimu buli ddakiika bakugiggyako ssente 5.5/-.

EMISOLO GYA BBANKA:

Stanbic Banka
Okuggyayo ssente ku ATM 500/-. Okuggyayo ssente munda mu bbanka 6,500/- ate draft 25,000/-.
Bw'oba osasula fiizi 2,500/-.  Okumanya ezisigaddeko ku akawunti ng'okozesa ATM ziba 100/-.

Okufuna sitatimenti ku ATM osasula 100/-.  Okufuna sitatimenti yo ey'omwezi 12,000/-
Ceeke buli kapapula 800/-. Buli musaala lwegugenda ku akawunti bakuggyako 3,000/-.

Centenary Bank
Ensimbi eziteekwa okusigala ku akawunti ziri 5,000/-. Okufuna ATM - 5,000/-. Bw'ekubulako -10,000/-  Okuggyayo ssente ne ATM - 600/-.  Okuggyayo ssente ku kawunta - 2,000/-
Akatabo ka banka buli page 600/-  Akapapula ka ceeke -15,000/-.

Okusaba akatabo ka ceeke ak'empapula 20 osasula 18,000/-, aka 60, 36,000/- ate ak'empapula 100 osasula 60,000/-. Okukuwa dulafuti - 20,000/- .  Okusasula fiizi 2,000/-. Omusaala 2,000/-.
Okukuwola 21 %. Sitatimenti 2,000/-.


Standard Chartered

ATM osasula 15,000/-. Bw'okabuza 15,000/- Okuggyayo ssente ne ATM 800/-.  Omusaala 5,000/- .
Sitatimenti - 5,000/-.


DFCU

Okuggyayo ku kawunta 3,000/-. Okussaayo - 1,000/- Omusaala - 2,000/-. Fiizi z’abayizi 2,000/-.
Statimenti 5,000/-.  Dulafuti 20,000/-. ATM bakuggyako 600/-.  ATM bw'ekubulako 10,000/-.


ENTAMBULA

Ssentebe w’ekibiina ekigatta baddereeva ne bakondakita ekya DACA Mustafa Mayambala agambye nti, okuva lwe baayongezza amafuta tubadde tetunnaba kwongeza bisale bya ntambula ku ngendo zonna, naye olw'embeera okutunyiga nga kati mmotoka nnyingi zeeyongede okusikira ku makubo.

Tugenda kutuula, wiiki eno tulabe bwe tusalira amagezi embeera eno, naye ng'ekituufu tugenda kwongeza ebisale byentambula.

Omusolo ku mobile money ne bbanka gutandise

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...