TOP

Omukazi eyayokezza bba olweje bamukutte

Added 26th August 2014

OMUKAZI nnaluwali yayiiridde bba amazzi agookya ng’amulanga butasula waka ate lw’asuzeewo buli kiseera n’abeera ng’ayogera ku ssimu n’okumussa ennyota y’omukwano.

 Bya SHAMIRAH NABIDDO

OMUKAZI nnaluwali yayiiridde bba amazzi agookya ng’amulanga butasula waka ate lw’asuzeewo buli kiseera n’abeera ng’ayogera ku ssimu n’okumussa ennyota y’omukwano.

Irene Nabuulo 21 nga mutuuze w’e Kabunza mu Ggombolola y’e Gombe mu Wakiso yakwatiddwa poliisi y’e Matugga nga kigambibwa nti yayokezza bba, Ibrahim Mayanja bwe yabadde yeebase.

Nabuulo agamba nti bba ayitirizza okumunyooma nga bw’aba ayogera ne bakazi be abalala atumbula essimu n’abeera ng’awulira ebigambo by’omukwano bye boogera.

Agamba nti yatandise n’okuleeta engoye za mukazi we azooze.

Mayanja agamba nti Nabuulo ayitirizza obuggya ekyamuwalirirza okuddira mukyala mukulu kuba yali amukijjanya bwe yakimanya nti alina omukazi omulala.

Yeegaa nyi n’olubuto lw’alina ng’agamba nti bamaze emyezi mukaaga nga tebeegatta. Akulira poliisi y’e Matugga Henry Buyondo agamba Nabuulo yagguddwaako omusango ku fayiro SD:39/18/08/2014.

Omukazi eyayokezza bba olweje bamukutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...