TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bankubakyeyo batandise pulojeti y'okuzimbira abakozi ba Gavt. amayumba

Bankubakyeyo batandise pulojeti y'okuzimbira abakozi ba Gavt. amayumba

Added 12th September 2014

BANKUBAKYEYO bazze n'enteekateeka okuzimbira Bannayuganda amayumba ag’ekibanja mpola nga batandikira ku basomesa, abasawo n’abaserikale.

BYA AHMED KATEREGGA NE SARAH ZAWEDDE

BANKUBAKYEYO bazze n'enteekateeka okuzimbira Bannayuganda amayumba ag’ekibanja mpola nga batandikira ku basomesa, abasawo n’abaserikale.

Mu nteekateeka eno ewomeddwaamu omutwe, ab'amatabi ga NRM ebweru wa Ugabnda, essira ligenda kusinga kussibwa ku basomesa n’abasawo naddala mu masomero n'amalwaliro ga Gavumenti, okwo kwe banassa abajaasi, abapoiisi n’abaserikale b’amakomera.

Enteekateeka eno yatongozeddwa e Masooli ku luguudo lw’e Gayaaza mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano nga September 11 omwaka guno, ku mukolo ogwakoleddwao omwogezi wa NRM e Bungereza ne Ireland, Mw. Moses Kimuli, era nga y'akulira NRM Radio eri ku mukutu gwa yintaneti.

Kimuli yategeezezza nti Bannayugada abli e Bungereza ne mu Amerika nga bawagizi ba NRM bazudde ng’omusaala abakozi ba Gavumenti gwe bafuna naddala abasomesa, abasawo n’abaserikale mutono ddala ng'abamu batuuka n'okuwummula nga tebalina maka.

“Kino tukikoppye e Bulaaya ne mu Amerika gye kikoze obulungi era tulina essuubi nti na wano kijja kukola,” bwatyo bwe yategeezezza.

Agamba nti pulojekiti eno bagitandiiseewo n'ekigendererwa okutumbula eby’enjigiriza mu ggwanga n'okuyamba abakozi ba Gavumenti bamufuna mpola kyokka nga baamugaaso eri eggwanga okuzimba amayumba mwe basula mu bwangu .

Kimuli yagambye nti kino kigenda kukendeza ku bweraliikirivu bw’okupangiisa amayumba buli mwezi n'agamba nti abafunye omukisa guno bajja kuzzaayo ssente zino mu mpolampola okusinziira ku kifo ennyumba gy'ezimbiddwa.

Omugenyi omukulu ku mukolo guno yabadde omukwanaganya w’amatabi ga NRM ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi, eyasanyukidde enteekateeka eno n’agamba nti egenda kuzza essuubi mu bakoizi naddala aba Gavumenti.

 

 

Bankubakyeyo batandise pulojeti y''okuzimbira abakozi ba Gavt. amayumba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...