TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddie Kenzo tatya loosi! Aggunze munnamawulire lwa kalebule

Eddie Kenzo tatya loosi! Aggunze munnamawulire lwa kalebule

Added 12th September 2014

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Eddy Kenzo okuggundu munnamawule Isaac OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Eddy Kenzo okuggundu munnamawule Isaac Katende amanyiddwa nga Kasuku Kuku Wazabanga agakonde, Kasuku agamba nti ayagala Kenzo amwetondere bw'agaana baleppuke mu kkooti.

 Bya Musaasi waffe

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Eddy Kenzo okuggundu munnamawule Isaac Katende amanyiddwa nga Kasuku Kuku Wazabanga agakonde, Kasuku agamba nti ayagala Kenzo amwetondere bw'agaana baleppuke mu kkooti. 

Ku Lwokuna bwe baabadde mu lukung’aana lwa bannamawulire, Kenzo lwe yatuzizza ku Laftaz, ekimu ku bifo ebisanyukirwamu ku Centenary Park mu Kampala okubabuulira ku nteekateeka za lonki ye eya 'Sitya Loss' egenda okubeerawo nga September 19, 2014 e Lugogo ku KatiKati,

Kenzo yavudde mu mbeera oluvannyuma lwa Kasuku aludde nga tebalima kambugu okumusibako ebigambo Kenzo bye yagambye nti ssi bituufu okukakkana ng'abuuse mu katebe mwe yabadde atudde n'akuba Kasuku ebikonde eby’okumukumu.

Entabwe yavudde ku Kasuku bakira abuuza Kenzo ebibuuzo ebingi nga tamuwa budde kubiddamu okukimuteekako nti waliwo ekiseera we yasasulira abaweereza b’oku ttiivi ssente baleeke kuba nnyimba za Big Eye.

“Ggwe Kenzo abamawulire olina okutuwa ekitibwa era osanidde okutwetondera, ogamba otya nti ffe tusaba abayimbi ssente ate nga ye gwe namba emu mu kusasula abaweereza b’oku ttiivi ssente baleeke kuba nnyimba za bano. Nina obukakafu waliwo omuntu gwe wasasula ssente era mu mannyi aleeke kuba nnyimba za Big Eye ate kati oliwano otubuuzabuuza…..”

Wano Kenzo yasabye Kasuku asirike amuddemu wabula Kasuku ne yerema ng'agamba nti “Tolina by'owooza okuggyako nga oyagala nkutwale ku ttiivvi nkulage omuntu gwe wasasula ssente…..”

Kenzo yagezezzaako okwewoozako nti “Big Eye mmutwala nga muganda wange era tutobye ffembe nga tusula mu nnyumba y'emu, twambala ngoye ze zimu mu kiseera Kasuku ky'oyogerako…”  wabula Kasuku nga takkiriza alemedde ku nsonga, ekyaggyeeko Kenzo 'waya' n'alumba Kasuku n'amukuba.

Amangu ago Kenzo yavuddewo n’ekibinja ky'abavubuka be ate ye Kasuku yasibidde ku poliisi ya Jinja Road n'amuloopa.  

Leero (Lwakutaano) Kasuku ategeezezza omusasi waffe nga bw'ali omwetegefu ensonga zino okuzimalira ebweru w’amateeka singa Kenzo akkiriza okumusisinkana boogere era amwetondere.

“Wadde Kenzo yankubye tekiggyawo kya kuba nti mukwano gwange. Kituufu nnamuguddeko omusango gw’okunkuba ku poliisi ya Jinja Road naye waliwo bannange abampadde amagezi nti mu kifo ky’okulemera ku nsonga zigende ne mu kkooti nsooke mmuwe omukisa annetondere, kyokka kino bw'atakikola nga ng'enga mu maaso n’omusango,” Kasuku bwe yategeezezza. 

Eddie Kenzo tatya loosi! Aggunze munnamawulire lwa kalebule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...