TOP

Abanaayimba mu Mega Fest batuuse

Added 20th September 2014

LEERO ku Lwomukaaga luno kigenda kutokota nga si kisaanikire mu kisaawe e Namboole mu kivvulu ‘ssemavvulu’ ‘Club Mega Fest’.

Bya MARTIN NDIJJO

LEERO ku Lwomukaaga luno kigenda kutokota nga si kisaanikire mu kisaawe e Namboole mu kivvulu ‘ssemavvulu’ ‘Club Mega Fest’.

Bbo abayimbi ab’amannya okuva mu nsi yonna baatandise okuyingirawo mu ggwanga ku Lwokuna ekiro ng’eyasoose okutuuka ye Burna Boy.

Abalala abasinze okwesungibwa kuliko Shuggy, Mafi kizolo ne Patra nga bano bagenda kubbinkana n’abayimbi abanene Bannayuganda 20 mu kivvulu ekiwagiddwa Kampala Sun, XFM ne Urban TV.

Emiryango giggulwawo ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu olwo endongo esindogome okutuusa ku Ssande nga bukya.

Omunigeria Burna-Boy ng’amannya ge amatuufu ye Damini Ogulu (23) eyayimba, Wombolombo, Yawa Dey, Tonight, Run My Race yayingiddewo ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokutaano.

Olwatuuse n’awera nga bw’agenda okukuba Bannayuganda emiziki atuuke okuva ku siteegi nga bamusaba ‘anko’.

“Nkimannyi abasinga mubadde mumpulira buwulizi.

Kati y’essaawa mulabe Burna-Boy omutuufu era mugenda kukakasa nti mu miziki nze nnantameggwa.

Nneesunze ku biwala by’omu Kampala bye bawaana okubwe yagambye.

Abanaayimba mu Mega Fest batuuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...