TOP

KCCA eyodde 65 abamansa kasasiro ku nguudo

Added 29th September 2014

ABANTU abasoba mu 65 okuva mu bitundu eby'enjawulo mu Kampala bayunguse amaziga bwe bayooleddwa mu bikwekweto ebyatandikiddwaawo KCCA okukwata abasuula ebiveera bya kasasiro ku nguudo ne mu myala mu Kampala.

BYA HANNINGTON NKALUBO

ABANTU abasoba mu 65 okuva mu bitundu eby'enjawulo mu Kampala bayunguse amaziga bwe bayooleddwa mu bikwekweto ebyatandikiddwaawo KCCA okukwata abasuula ebiveera bya kasasiro ku nguudo ne mu myala mu Kampalao.

Ebikweekweeto byakoleddwa ku luguudo lwa Apollo Kaggwa, Nakulabye, LDC Katanda ,Kyebando Bakuli ,Kamwokya , Kampala mukadde , Arua Park ne Kakajjo zooni .

Akulira ebikwekweto bino, Josephine Kitakka yagambye nti abamu ku bakwate kuliko: Robinah Namuli, Frolance Natukunda, Simon Mulindwa, Alex Sseggayi, Fred Muwonge, Magrete Anguzu, Joyce Naiga, Isma Kalema , Richard Byaruhanga, Derick Ayebale Marry Kabulasa ne Francies Mukiibi.

Abalala ye Yasin Kyambadde, Moses Muguwa, Patrick Watumu , Musa Bonane, Juma Asiku, Twah Makaya, Edward Kisekka, Richard Lukumu , Ester Najjingo, Lacy Nakayi , Srah Nalumu, Procy Nakayima , Margeret Nakazzi, Robert Acire Ibrahim Babalanda ne Sylvia Bayendeza.

Kigambibwa nti abaakwatiddwa baasangiddwa nga basuula ebiveera bya kasasiro n'ebikutiya ku nguudo ezenjawulo mu Kampala ne mu myala.

"Tuzze tulabula abagenda bagyamawaza ekibuga naye kati tutandise okubayigga ekiro. Buli akwatibwa tumutwala butereevu ku Poliisi gye tumugya ne tumwongerayo mu kkooti n'avunaanibwa okugyamawaza ekibuga," Kitakka bwe yagambye.

Yategeezezza nti abakozi ba KCCA abayonja ekibuga bakola bulungi naye obudde bugenda okukya ng'ebifo awatabadde kasasiro ate nga bijjuddemu kasasiro ku makya.

Yagambye nti ekibonerezo kya kusasula engassi ya 500,000/- oba okukusiba ebbanga lya myezi mukaaga.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yagambye nti wadde ebikwekweto bino bikolebwa, byegasse ku bibadde bikolebwa emisana ku bantu abatambulira mu muddo, abagula ebintu ku batembeyi n'abagyamawaza ekibuga.

Wabula abamu ku baakwatiddwa beemulugunyizza nti KCCA terina bipipa bya kasasiro ku nguudo ate nga baabagamba nti kasasiro bamukung'anyize mu kifo kimu kyokka ne bwe babasanga mu kifo ekyo nga bamusuulawo babakwata.
 

KCCA eyodde 65 abamansa kasasiro ku nguudo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.