TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ''Aneesimba ku Museveni waakusasula obukadde 20''

''Aneesimba ku Museveni waakusasula obukadde 20''

Added 30th September 2014

AB’AKABONDO ka NRM bataddewo akakwakkulizo ka bukadde 20 ku baagala okwesimbawo okuvuganya ku Bwapulezidenti bwa Uganda.

BYA AHMED KATEREGGA

AB’AKABONDO ka NRM bataddewo akakwakkulizo ka bukadde 20 ku baagala okwesimbawo okuvuganya ku Bwapulezidenti bwa Uganda.

Ab’akabondo kano akaasiibye mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe eggulo ku Mmande nga bateesa ku lipoota y’akakiiko ka Muky. Rosemary Ssenninde (Mukazi / Wakiso), era baataddewo obukadde 3 ku buli ayagala okusimbwawo NRM ku bubaka bwa Palamenti, akakadde 1 ku buli ayagala obwasentebe bwa LC V, emitwalo 30 ku buli ayagala obwameeya n'emitwalo 5 ku buli ayagala obwakansala.

Nampala wa Gavumenti Muky. Justine Kasule Lumbumba yategeezezza nti kino kigendereddwa okusobozesa akakiiko k'ebyokulonda aka NRM okufuna ensimbi ez’okukubiriza okusunsulamu. Kyokka abatunuulizi baakirabye nga kaweefube ow’okulemesa abalala okwesimbawo n’okukuumira mu buyinza abaliyo bokka.

Bakkaanyizza nti okutandika n’omwakao ogujja 2015, abaalondebwa ku bwa ssaabawandiisi omumyuka we, omuwanika n’omumyuka we tebajja kulya bifo birala mu Gavumenti okuggyako okwemalira ku mirimu gy’ekibiina.

Akafubo akatandise ku makya kaakomekkerezeddwa ku ssaawa 3:00 ez’ekiro mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Mmande.

Baabadde bakubirizbwa Nampala wa Gavumenti Muky. Justine Kasule Lumumba kyokka nga ne Pulezidenti Yoweri Museveni yalwetabyemu. Lumumba yategeezezza Bukedde nti abadde Katikkiro wa Uganda, Patrick Amama Mbabazi teyasobodde kulabikako kyokka yaweerezza obubaka obw'okwetonda olw'obutasobola kubaawo.

 

Aba NRM bataddewo obukwakkulizo ku baagala okwesimbawo ku Bwapulezidenti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...