TOP

Ssebaana bamukoledde akabaga k'emyaka 80

Added 12th October 2014

EKIBIINA kya DP kikoledde eyaliko ssentebe aakyo John Ssebaana Kizito embaga olw’okuweza emyaka 80.

 Bya ANTHONY SSEMPEREZA ne HANNINGTON NKALUBO

EKIBIINA kya DP kikoledde eyaliko ssentebe aakyo John Ssebaana Kizito embaga olw’okuweza emyaka 80.

Embaga eno yabadde ku Pope Paul Memorial Community Centre mu Ndeeba wakati mu kuyimba ennyimba eziwaana DP nti, “Egumire egumire”.

Embaga yetaabiddwaako ebikonge bya DP, bannaddiini n’abakungu okuva mu NRM ne Mmengo.

Abakungu okuva mu NRM kwabaddeko omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, Minisita Maria Mutagamba ate okuva e Mmengo kwabaddeko Omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa, Katikkiro eyawummula Dan Muliika n’omwogezi wa Mmengo Denis Walusimbi n’abalala.

Omukolo gwatandise n’essaala eyakulembeddwa Kalidinali Emmanuel Wamala ng’ali ne Sheikh Abdulu Kadiri Mbogo. Baasabidde Ssebaana olwa katonda okumukuuma okuweza emyaka 80. 

Dr. Kawanga Ssemwogerere yagambye nti, “aba DP tulina essuubi kubanga abavubuka tubalina, era balina ebyokulabirako mu byobufuzi omuli Ssebaana Kizito nange.”

Ate Ssebaana yagambye nti, “Nneebaza Katonda byonna abimpadde sijula. Mu byobufuzi mbadde ku buli lukiiko okuva ku LC.1 okutuuka LC.V era mbaddeko minisita.”

Ssebaana bamukoledde embaga y’emyaka 80

More From The Author

Ab

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...