TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Vision Group ne Orient Bank bawadde ab'embuto ebikozesebwa mu kuzaala

Vision Group ne Orient Bank bawadde ab'embuto ebikozesebwa mu kuzaala

Added 16th October 2014

Abakazi b’embuto beeyiye ku ddwaaliro lya KCCA e Kawaala okufuna ebintu ebikozesebwa mu kuzaala nga byabaweereddwa bbanka ya Orient ne kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde.

Bya prossie kalule

Abakazi b’embuto beeyiye ku ddwaaliro lya KCCA e Kawaala okufuna ebintu ebikozesebwa mu kuzaala nga byabaweereddwa bbanka ya Orient ne kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde.

Baakuutiddwa okwekebeza mu malwaliro kiyambe abasawo ababa babazaalisa okumanya embeera gye balimu n’abaana.

Akulira okutumbula ebikolebwa kkampuni ya Vision Group, Muky. Suzan Nsibirwa yakubirizza abazadde okubuulirira abaana obuzibu obubeerawo singa bafuna embuto nga tebanneetuuka.

Yakyukidde n’abakyala abazaalira okumukumu n’agamba nti kya bulabe eri obulamu bwabwe ate nga kikaluubiriza okulabirira abaana abangi.

                                   Abaabaddeyo nga babagabira ebikozesebwa

Abakazi baakuutiddwa okwekebezanga mu malwaliro nga tebannagenda kuzaala kubanga kino kitaasa bulamu bw’abazadde singa wabaawo ekitateredde.

Muky. Nsibirwa yawadde abakyala amagezi okukuumira ennyo abaana mu masomero kibatangire okwenyigira mu by’okwegatta mu mukwano nga bakyali n’okwewala okufuna embuto ze bateetegekedde.

Ate akulira banka ya Orient, Mw. Julius Kakeeto yagambye nti abakyala bangi batuuka okugenda okuzaala nga tebalina bikozesebwa nga y’ensonga lwaki bavuddeyo n’obuyambi buno basobole okuwa bamaama b’eggwanga essuubi nti ddala tebali bokka.

                        Abakyala abembuto bazze mu bungi okufuna ebikozesebwa

Mu kitereke ekyabaweereddwa mwabaddemu ppamba, emkanpa (giraavuzi) ezikozesebwa abasawo, ejjirita, akaveera abakazi kwe beebaka nga bazaala n’ekipande ekikozesebwa okugema omwana ng’azaaliddwa.
Abakyala baabadde bangi nga baavudde ne mu bitundu ebirala nga Jinja ne Wakiso.
 

Vision Group ne Orient Bank bawadde ab’embuto ebikozesebwa mu kuzaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...

Bobi Wine ne mukyala we Barbi e Kiboga.

Balabudde abaserikale abatu...

AB'EDDEMBE ly'obuntu balabudde nti bagenda kuwawaabira abaserikale abatulugunya abeesimbyewo, buli muserikale bagenda...

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...