TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Jennifer Musisi agenda kuggala akeedi 15 mu Kampala

Jennifer Musisi agenda kuggala akeedi 15 mu Kampala

Added 16th October 2014

OLUVANYUMA lwa KCCA okuggala bbaala y’omugagga, Joseph Kiyimba eya Ambiance n’ekizimbe kya Mabiriizi Complex ku Kampala Road olw’obutaba na lukusa lubikkiriza kuggulawo, erangiridde nti ezzaako ebizimbe ebirala 15 by’etayagalamu basuubuzi era nabyo etandika wiiki ejja okubiggala.

BYA Hannington NKALUBO, Steven MUSOKE  NE Eria LUYIMBAAZI


OLUVANYUMA lwa KCCA okuggala bbaala y’omugagga, Joseph Kiyimba eya Ambiance n’ekizimbe kya Mabiriizi Complex ku Kampala Road olw’obutaba na lukusa lubikkiriza kuggulawo, erangiridde nti ezzaako ebizimbe ebirala 15 by’etayagalamu basuubuzi era nabyo etandika wiiki ejja okubiggala.

Bannannyini bizimbe bino balangibwa kubiggulawo ne bitandika okubipangisibwa abasuubuzi babikoleremu kyokka nga tebafunye lukusa kuva mu KCCA ng’etteeka bwe liragira.

KCCA eyagala buli kizimbe nga nnannyini kyo tannaba kukiggulawo kukoleramu basuubuzi esooke ekirambule ekakase nti byonna ebyali ku pulaani byebikoleddwa ku kizimbe nga kirina ebbaluwa ekakasa nti kizimbiddwa bulungi.

KCCA BY’EYAGALA;
Buli ayagala okuzimba ateekwa okuba ne pulaani eyisiddwa ba yinginiya ba KCCA era ng’ekyapa kiri mu mannya ge obakkampuni ye era ng’ekifo awagenda okuzimbibwa tewali akaayanirawo yenna.

Nga nnannyini kizimbe tannaba kutandika mulimu era KCCA eteekwa okugenda ku poloti n’egiraba.

Ekizimbe bwe kitandika okuzimbibwa, buli mutendera ogutuukibwaako yinginiya bateekwa okugenda ne bakebera ebikoleddwa okukakasa nti biri ku pulaani era nnannyini kizimbe bamuwa akatabo mwe bagenda bajjuza buli lwe bamulambula.Ebikozesebwa ku kizimbe omuli omusenyu, amatoffaali n’ebirala bayinginiya bateekwa okubikebera okukakasa nti biri ku mutindo.

                                             Ekizimbe kya Mabiriizi Plaza nakyo kyaggaddwa

Oluvannyuma lw’ekizimbe kyonna okuggwa era nga kirambuddwa bulungi, KCCA ewandiika ebbaluwa ekikkiriza okuggulwaawo n’okutandika okukoleramu.

Wabula waliwo olukusa oluweebwa abamu ku bagagga nga bamalirizza omwaliiro oba ebiri ku kizimbe kyokka abamu era tebalufuna.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yagambye nti ebbanga eriweereddwa abagagga ku bizimbe byaabwe liweddeko nga kati ekikolebwa kuggala.

“Tulina olukalala lwa bizimbe 15 bye tugenda okuggala nga bannannyinibyo babipangisa abasuubuzi ne babikoleramu mu bukyamu. Ebimu tebirina pulaani yonna, ebirala bye twabalagira okukola baabivaako, baakyuusa paakingi ne bassaamu amaduuka abamu olumaliriza tebafaayo kuweebwa bbaluwa ebakkiriza kukola,” Kaujju bweyagambye.

Abamu ku bakolera mu kizimbe kya Mabirizi Plaza nga basobeddwa. 

N’ategeeza nti basookedde ku Club Ambiance gye baggadde wiiki ewedde lwa nnannyiniyo kuva ku pulaani gye baamuwa ne yeetumiikiriza n’assaako ekifo waggulu ku kizimbe n’okukyusa agamu ku madaala abantu kwebalinnyira waggulu mu bifo ebitaali ku pulaani eyayisibwa.

Yagambye nti ate ekya Mabiriizi yakizimba n’akimaliriza kyokka bayinginiya ba KCCA tebaakirambula kukakasa nti pulaani yaakyo yagobererwa era tekirina lukusa lukikkiriza kukolerawamu bantu ng’eno y’emu ku nsonga eyakiggazza.

“Ekizimbe ekitakkiriziddwa KCCA kuggulawo mu butongole kiba n’ensonga lwaki KCCA tegikiwadde era ezimu ku nsonga kwek ukyuusa pulaani okuva ku nkadde, okuba nga kizimbiddwa bubi oba nga tekinnaggwa era Mabirirzi agwa mu kiti kino,” Kaujju bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti akeedi ezimu ziri ku luguudo olwa William, Luwum, Ben Kiwanuka, Nakivubo Road, Nabugabo, mu Kikuubo, Kampala Road ne mu Kiyembe.

Yagambye nti tayagala kuwa mannya ga akeedi zino nga tebannaziggala kubanga emirundi mingi bwe batuukirira bannyinizo nga badduka beekubira enduulu mu banene mu Gavumenti omuli n’abamagye nga KCCA eremesebwa okutuukiriza emirimu gyayo.

Yayongeddeko nti bagenda kutuukirira bbanka bazigaane okuwola abagagga ensimbi nga basingayo ebizimbe bino ebitalina bisaanyizo.

ABAGAGGA BOOGEDDE;

Omugagga Mansoor Matovu amanyiddwa nga Yanga yagambye nti KCCA kituufu ekola mirimu gyaayo naye yaalibadde ekolagana bulungi ne bannannyini bizimbe ensonga ne bazimalira mu kuteesa nga tewali ludda lunyigiriziddwa.

Yategeezezza nti ensobi zonna eziba ku kizimbe zisobola okumalibwaawo nga buli ludda luteesezza n’olulala kubanga ekikwekweto kigenda kunyigiriza abantu bangi naddala abasuubuzi ate nga nabo bagiwa omusolo.

Ate ssentebe w’abagagga mu kibiina kya Kwagalana Group Godfrey Kirumira yagambye nti ensonga bagenda kugiteesaako era ayise abakwatibwaako balabe engeri gye basalira awamu amagezi.

“Tugenda kutuula ne KCCA ku Lwokutaano etutegeeze kiki ky’eyagala tukole era ekiseera kino mbaga mabaluwa agayita bagagga bannange tugende tusisinkane KCCA ku nsonga eno tuteese,” Kirumira bwe yagambye.

Ate omugagga Patrick Muheirwoha owa Shumuk yagambye nti ebikwekweeto bya KCCA teyaalibikoze nga tesoose kuyita mu makubo gateesa.” Ssente tezifunika.

KCCA okuggala ekizimbe ekimaze okuyingiramu abasuubuzi kikosa bangi kubanga omugagga yekka si y’afiirwa wabula kitwaliramu ne bannannyini maduuka abasasula emisolo.

ABASUUBUZI BAYOMBA

Abakolera mu Mabirizi bayomba bwe bategeezezza nti olutalo lw’omugagga ne KCCA lwalibadde terubatwaliramu kubanga bo basasula ssente zaabwe kukolera mu kizimbe ekiwedde era baakiyingira tekirina buzibu.

Ssentebe w’abasuubuzi mu kizimbe kino, Azizi Magala yagambye nti beewunyizza ab’ekitongole kya KCCA okuggala ekizimbe ekikolerako abantu abasoba mu 1000 nga tebasoose kubalabulako ate nga nabo baliko emisolo gye basasula mu kitongole kino.

Abasuubuzi baayombye nti KCCA okusindika abaserikale baayo ku ssaawa 10:00 nga busaasaana ne basiba kkufulu ku kizimbe obutakkiriza muntu kukiyingiramu kibafiirizza ssente zaabwe nnyingi.

Wabula Kaujju yawabudde nti okuggala ebizimbe bakikola kuyamba babikoleramu olw’obutas-sa bulamu bwabwe mu matigga.Yannyonnyodde nti Mabiriizi yazimba emyaliiro egyasooka era KCCA n’egirambula wabula bwe yayongerako emyaliiro emirala teyaddayo mu KCCA okusobola okufuna olukusa olumukkiriza okuteekamu abapangisa ekintu ekikontana n’amateeka.

Obudde we bwazibidde ng’ekizimbe kikuumibwa baserikale ba KCCA abaabadde bayambibwaako poliisi kyokka ng’abasuubuzi bali bweeru tebamanyi kiddako.
 

Jennifer Musisi agenda kuggala akeedi 15 mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...