TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbaasi egudde e Nakasongola n'erumya abasaabaze 10

Bbaasi egudde e Nakasongola n'erumya abasaabaze 10

Added 17th October 2014

ABANTU 10 baweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Mulago nga bataawa oluvannyuma lwa bbaasi okugwa e Nakasongola ngabukya ne bamenyeka.

Bya DEBORAH NANFUKA

ABANTU 10 baweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Mulago nga bataawa oluvannyuma lwa bbaasi okugwa e Nakasongola ngabukya ne bamenyeka.

Abaalumiziddwa kuliko; Danisa Kyarimwa asoma obusawo mu ddwaaliro lya Arua ng’endabirwamu
zaamusaze omutwe, Frister Muhindo 22 omutuuze w’e Arua yafunye lubale mu maaso, Jimmy King 26, yamenyese omukono n’okugulu, Saviour Tiondi 23, yamenyese okugulu, Patience Joan omuyizi mu
Varal SS yamenyese mukono.

Gloria Ayiyo omuyizi mu Paidha SS siniya eyomukaaga yamenyese mukono, Aisha Namuyingo 20, ow’e Arua yalumiziddwa mu kifuba n’okufuna olubale mu feesi, Ronald Adriko omukono gwekaase ate Driston Muhindo ow’e Arua n’alumizibwa mu feesi.

Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 11;00 ez’ekiro nga bukya ku Lwokuna bbaasi ya kkampuni
ya Califonia nnamba UAS 566U ebadde eva mu Arua bwe yalemeredde omugoba waayo ne yeerindiggula abaagibaddemu ne balumizibwa.

Omusawo Kyarimwa agamba nti ddereeva yeebase mmotoka n’emuwabako ne yeefuula era omuduumizi wa poliisi Maj. Gen Kale Kaihura ye yabasanze ng’alina gy’alaga n’akubira poliisi essimu n’etuuka abaalumiziddwa abamu ne batwalibwa mu ddwaaliro e Nakasongola ate abalala abaabadde mu mbeera embi ennyo ne baleetebwa e Mulago.

Bbaasi egudde e Nakasongola n’erumya abasaabaze 10

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...