TOP

Ebirala ebizuuse ku Kiwana

Added 23rd October 2014

EBIZUULIDDWA ku masasi g’e Ndeeba mwe battidde Kiwana biraze nti akanyoolagano kaabaddemu abaserikale ba Flying Squad abalala basatu abaabadde bagenze ku ‘misoni’ kyokka ebintu ne bibatabukako.

Bya BASASI BAFFE

EBIZUULIDDWA ku masasi g’e Ndeeba mwe battidde Kiwana biraze nti akanyoolagano kaabaddemu abaserikale ba Flying Squad abalala basatu abaabadde bagenze ku ‘misoni’ kyokka ebintu ne bibatabukako.

Godfrey Muhirwa eyakubye Mohammad Kiwana amasasi agaamusse ne munne Deo Jaaya, ne galumya Matia Busuulwa; aludde ng’amanyiddwa nnyo mu by’okusuubula yingini z’amaato,
obutimba obuvuba n’okusuubula obwennyanja era ng’alina n’emmundu.

Mu busuubuzi buno mwe yafunira obutakkaanya ne munne ne batuuka ku ssa erya buli omu okutiisatiisa okutuusa obulabe ku munne (omusajja ono abasing bamumanyi nga mukwano gwa Ramovik).

OLUKWE KWE LWAVUDDE
Kigambibwa nti mukwano gwa Ramovik yatuukiridde Kiwana gw’aludde ng’amanyi bulungi nti ssi mwangu.

Yakoze naye ddiiru ey’okumuggyirawo (okutta) Muhirwa. Kiwana yasabye obukadde 15 wabula mukwano gwa Ramovik n’amugamba nti agaba 5 bwokka era n’asikayo obukadde 2 n’abumuteera ku mmeeza.

Kiwana olw’okwagala ssente, yazikutte kyokka n’agenda nga tamatidde muwendo kubanga yabadde asigadde abanja obukadde 3 bwokka ze yabadde alina okusasulwa ng’amaze okuggyawo Muhirwa ow’amaduuka ga sipeeya agayitibwa Martmix Auto Company Ltd mu Ndeeba.

Yakwataganye ne Jaaya ne Busuulwa aba Flying Squad n’abayitiramu ddiiru emuweereddwa mukwano gwa Ramovik.

Yaleese ekiteeso nti basobola okufuna ssente ezisingawo era kwe kutuukirira Muhirwa ne bamutegeeza nti waliwo omuntu abapangisizza bamutte era okuwonya obulamu bwe, alina okubawa obukadde 30.

Muhirwa yalemedde ku bukadde 20 kyokka ne Kiwana n’alemera ku bukadde 30 era ne baleka nga bamutegeezezza nti bamuwadde wiiki emu, okufuniramu ssente ezo azibawe bw’aba ayagala obulamu.

Baalese ennamba y’essimu kw’aba abakubira ng’afunye ssente ze beetaaga; kyokka nga buli olunaku oluyita bamukubira essimu ne bamugamba nti; “Ku nnaku zo, osigazzaayo 5 zokka”, enkeera nga bamuddamu nti osigazzaayo 4; ekintu ekyamumazeeko emirembe.

Kino kyawalirizza Muhirwa okugenda ew’omuduumizi wa Flying Squad Herman Owomugisha n’amugamba nti: Njagala munzitire Kiwana.

Ensonda ez’ekyama ennyo munda mu poliisi zaategeezezza Bukedde nti Muhirwa yalabye Owomugisha amuzza mu bya kuggulawo musango, kwe kuyita emabega n’afuna aba Flying Squad
basatu (amannya ka tukuweeko limulimu: Faisal, Kakuru ne Rashid) be yakkaanyizza nabo bamuttire Kiwana era ne bakola ddiiru nti bwe bamala okumutta beetwalire obukadde 20 ze banaamusanga nazo.

DDIIRU EYIIKA
Olwo Muhirwa yabadde akkaanyizza n’abantu be yakolaganye nabo nti agenda kuwa Kiwana obukadde 20 amugambe nti obukadde 10 bagenda kubuggya ku ssundiro lya Petrocity mu Ndeeba era wano
we baabadde balina okuteega bamukube amasasi beetwalire ssente olwo nalwo luggwe!

Kino ky’ekyakoleddwa, Muhirwa n’akwasa Kiwana ne banne obukadde 20 n’abatwala ku Petrocity okubawa ensimbi endala nti olwo nabo balyoke bamubuulire eyabapangisizza okumutta.

Abazze ku ‘misoni’ ekyababuuseeko kwe kulaba nga ku ludda lwa Kiwana kuliko bannaabwe babiri (Jaaya ne Busuulwa) amagezi ne gabeesiba.

Mu ntegeka gye baabadde nayo, Kiwana yabadde alina okufuluma emmotoka okufuna obukadde ekkumi, kyokka yagaanidde mu mmotoka n’atuma Jaaya ne Busuulwa.

Eby’embi ne Muhirwa yabadde talina ssente za kubongera era yasoose kussaawo kakwakkulizo nti bamala kumubuulira yabatumye okumutta n’alyoka abawa ‘bbaalansi’ era Jaaya n’amumubuulira
wabula ono n’atawaayo ssente kubanga teyabadde nazo.

Wano okutabuka we kwavudde Muhirwa n’akuba Jaaya amasasi ng’atya okumwesooka.

Yazze ku Kiwana mu mmotoka n’amukuba amasasi ge yayisizza mu ndabirwamu y’emitto gy’emabega.

Kyokka waliwo n’essasi eryavudde mu mmotoka y’abantu Muhirwa be yabadde apangisizza (UAM) nga nalyo ligambibwa nti lyakutte Kiwana; wabula abaabadde ku ‘misoni’ embeera yabatabuseeko nga tebalina bwe baggyayo bukadde 20 kuzeetwalira nga ddiiru bwe yabadde erukiddwa; ne beemulula.

Kyokka Owomugisha yategeezezza nti baategeddeko nti wayinza okubeerawo obuzibu mu Ndeeba akawungeezi k’Olwokusatu ne basindikayo ekibinja ky’aba Flying Squad abalala kikwate Kiwana nga
mulamu wabula ne kitasoboka.

Ekibinja Owomugisha kye yasindise kyabadde kikulembeddwa Jamil Kyeyune era nakyo kyekanze okulaba ng’abamu ku baakubiddwa amasasi bannaabwe mu Flying Squad.

Ensonda mu poliisi munda, zaategeezezza nti wadde Muhirwa yalaze nti mukaziwe ye yapangisizza abaagala okumutta; oyo yabadde
ateebereza muteebereze kubanga mu kiseera we yasisinkanidde
Owomugisha, yabadde tannamanya muntu mutuufu ayagala kumutta.

KIWANA EMMOTOKA MWE YATULUGUNYIZA ABANTU EZUUSE
Emmotoka “Ddudu” ab’omu Ndeeba, Najjanankumbi, Namasuba, Kibuye n’emiriraano gye baakazaako “Mpaawaatalikaaba” yazuuliddwa mu ggalagi y’e Ndeeba.

Abatuuze bagamba nti muno Kiwana mw’abadde atambulira nga b’ayagala okutulugunya mw’abanyigira n’abaggyamussente ze yeetaaga era abawalira
ng’ababuzaawo.

Muhirwa akyakuumirwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okuggulwako emisango 4 omuli okutta abantu babiri, okugezaako okutta omuntu bwe
yakuba Busuulwa amasasi ng’ono kati ajjanjabirwa ku Case Clinic; wamu n’omusango gw’okubeera n’emmundu mu bukyamu.

Muhirwa yategeezezza Poliisi eggulo nti okumusiba bafiiriza ggwanga kubanga alina amaduuka 20 okuli aga yingini n’aga pikipiki ezisoba mu 500 gayimiridde;
nti ate nga mu kukuba amasasi yali yeetaasa ku babbi.

 

Ebirala ebizuuse ku Kiwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...