TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda eyongedde abajaasi 2,754 mu ddwaaniro e Somalia

Uganda eyongedde abajaasi 2,754 mu ddwaaniro e Somalia

Added 28th October 2014

UGANDA eyongedde amagye mu Somalia okwenyweza ebyokwerinda mu kibuga Mogadishu ne mu bitundu amagye ga UPDF bye gaakawamba ku batujju ba al Shabaab.

Bya Ahmed Mukiibi.

UGANDA eyongedde amagye mu Somalia okwenyweza ebyokwerinda mu kibuga Mogadishu ne mu bitundu amagye ga UPDF bye gaakawamba ku batujju ba al Shabaab.

Mu nteekateeka y’emu, Pulezidenti Museveni alonze omuduumizi omupya ow’amagye ga Uganda mu Somalia nga ye Brig. Sam Kavuma  ng’azze mu bigere bya Brig. Dick Olum.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ekitebe ky’amagye ga UPDF, kyategeezezza nti, abajaasi abapya 2,754 be basindikiddwa mu Somalia, ng’abajaasi bano baatandise okutuuka mu kibuga Mogadishu  leero ku Lwokubiri.

Omuduumizi w’amagye ga UPDF, Gen. Katumba Wamala yasoose kusisinkana abajaasi bano  2,754  ku Mmande nga October 27, 2014 ku ttendekero ly’amagye e Singo gye babadde batendekebwa n’ababuulirira ku nneeyisa  n’ebibasuubirwamu nga bali mu Somalia.

Gen. Katumba yalangiridde nga Pulezidenti Museveni bwe yalonze Brig. Kavuma, abadde aduumira amagye ga Uganda agayigga kyewaggula Kony mu bibira bya Central African Republic (CAR) okudda mu bigere bya Brig. Olum ng’omuduumizi w’amagye ga Uganda mu Somalia.

Ekibinja ky’abajaasi ekipya ekisindikiddwa mu Somalia, Gen. Katumba yalangiridde nti kyakuduumirwa Col. Frank Kyambadde nga kino kigenda kukuuma obutebenkevu mu bibuga ebyakawambibwa ku ba al Shabaab naddala  e Barawe.

Looro ku Lwokubiri abajaasi abo lwe batandise okutuuka  e Somalia nga bakira ennyonnyi  ebasombera mu bibinja by’abajaasi abali wakati wa  100 ne 200.

Omwogezi w’amagye ga Uganda mu Somalia, Maj. Deo Akiki yategeezezza abamu ku bajaasi ba UPDF abaamalirizza  'misoni'  mu Somalia  gaakomyewo  mu Uganda nga baasiibuddwa  e Mogadishu omumyuka w’omuduumizi w’amagye g’omukago gwa AMISOM, Maj. Gen. Geoffrey Muheesi.

Uganda ayongedde abajaasi 2,754 mu ddwaaniro e Somalia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...