TOP

Sseggona bamulangidde amayirungi

Added 20th November 2014

PALAMENTI egaanyi okuwanduukulula amayirungi mu lukalala lw’ebiragalalagala wabula n’ewa minisita w’Ensonga z’omunda obuyinza okussa mu nkola etteeka erigawera ng’amaze okusomesa abagalima akabi kaago n’okubaagazisa ebirime ebirala eby’ettunzi.

Bya AHMED KATEREGGA

PALAMENTI egaanyi okuwanduukulula amayirungi mu lukalala lw’ebiragalalagala wabula n’ewa minisita w’Ensonga z’omunda obuyinza okussa mu nkola etteeka erigawera ng’amaze okusomesa abagalima akabi kaago n’okubaagazisa ebirime ebirala eby’ettunzi.

Bino byabadde mu Palamenti eggulo, baminisita b’oludda oluvuganya; Oweebyamateeka Medard Lubega Sseggona (DP/Busiro East) ne Muwanga Kivumbi (DP/Butambala) bwe baafunvubidde nga
baagala amayirungi gaggyibwe ku lukalala lw’ebiragalagala kuba tegaliimu bukambwe bususse
kwenkana njaga nti ate galimwa nnyo e Busiro n’e Butambala.

Sseggona ye yasoose mu ddiiro n’agamba nti ye ne Kivumbi baabadde mu kafubo ne minisita omubeezi ow’Ensonga z’omunda Amb. James Baba ne bakkaanya, gagira gassibwa
ku bbali galeme kuwererwawo.

“Tewali muntu waffe agalya naye bagalima kufunamu nsimbi naye tutandise okubaagazisa okulima
emmwaanyi,” bwe yagambye n’awagirwa Kivumbi.

Omubaka Jesca Ababiku (Adjumani) yalangidde ababaka bombi okulima amayirungi ne beegaana nga bagamba nti bawolereza balimi baago era ne basaba omumyuka wa Sipiika, Jacob Oulanyah abimumenyeseewo, kye yakoze.

Awo omumyuka wa Ssaabawabuzi wa Gavumenti mu by’amateeka, Fred Ruhindi we yabasoomoolezza nti balumirirwa balonzi baabwe abagalima nga tebasaasidde bagalya ne gabakolako
obulabe n’awagirwa Minisita Baba.

Wabula minisita w’oludda oluvuganya ow’Ebyobulamu, Dr. Lulume Bayiga (DP/Buikwe South) ye yamaze eggobe mu kibya n’agamba nti okulya amayiringi kya bulabe nnyo nti era abagalya tebajjanjabika bwe bakwatibwa obulwadde bwonna n’asaba gawerebwe.

Sseggona bamulangidde amayirungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...