TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyodde 80 mu bumenyi bw'amateeka ku Kaleerwe

Poliisi eyodde 80 mu bumenyi bw'amateeka ku Kaleerwe

Added 26th December 2014

POLIISI y’oku Kaleerwe ekoze ekikwekweto n'yoola 80 okuli n’abasajja babiri abaakakwatibwa emirindi egisoba 20 bukya mwaka guno gutandiika.

BYA MOSES LEMISA

POLIISI y’oku Kaleerwe ekoze ekikwekweto n'yoola 80 okuli n’abasajja babiri abaakakwatibwa emirindi egisoba 20 bukya mwaka guno gutandiika.

Poliisi ng’eddumirwa Charles Nsaba eyabadde ayambibwako Paul Kibuuka akulira eby’okwerinda mu muluka gwa makerere ey’okusatu e Kawempe baakoze ebikwekweto mwe baakwatidde abavubuka abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka.

Abamu ku baakwatiddwa kuliko;  Emmanuel Kitaka,  omutuuze w’omu Nalwewuuba zooni e Mulago ng’ono yeeyita Mr. Elephant, saako ne Ibrahim Mwanje amanyikiddwa nga 'Macete'   nga bano bamanyikiddwa nnyo ng’ababbi ab’olulango mu kitundu.

Kitaka yeewozezzaako nti poliisi ezze emukwata kyokka nga ng’emulanga bwemage, n'agamba nti ye musajja mukozi ng’alina 'layibulale' ku luguudo lwa Mambule, eby’okubba tabirinaako kakwate!

Ku luno abatuuze baasiimye poliisi y’oku Kaleerwe olw’okukola ekisoboka okulaba ng’obumenyi bw’amateeka mu nnaku enkulu bw’abadde butono wadde nga waliwo ebifo ebimu abayaaye gye baamenye amayumba ng’abantu bagenze okucala.

Abaakwatiddwa abamu baasangiddwa mu bifulukwa , saako ne mu bifo ebyekusifu nga bateezze abantu okubba ate abalala obwedda beefuula abatambuza nga baagala kunyakula nsawo z’abantu n’amasimu naye olw’okuba poliisi yabadde etadde abasirikale mu buli kifo nga bali mu ngoye eza bulijjo.

Tom Mubiru, omu ku batuuze yategeezezza nti Ssekkukulu eziyise abamenyi b’amateeka babadde batigomya nnyo abantu naye ku luno poliisi yakoze ekisoboka okulaba nga abateeberezebwa okuba abamenyi b'amateeka bakwatibwa. 

Poliisi yayiye abasirikale bangi okwabadde n’abamagye abaatereddwa ku Nkulungo z’omu Kampala ne ku luguudo lwa Northern By pass.

Nsaba yategeezezza nti ku luno abatuuze n’abasuubuzi baakoze kya maanyi okukolagana ne poliisi mu kuyambako okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.  
 

Poliisi eyodde 80 mu bumenyi bw''amateeka ku Kaleerwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...