TOP

Ow'ettima asobezza ku mwana n'amutta

Added 16th January 2015

OMUSAJJA asobezza ku mwana ow'emyaka etaano (5) n'amutugira mu kabuyonjo e Najjanakumbi.

BYA SHAMIM NABUNYA

OMUSAJJA asobezza ku mwana ow'emyaka etaano (5) n'amutugira mu kabuyonjo e Najjanakumbi.

Omulambo gw'omwana atannategeerekeka mannya wadde bazadde be gwazuuliddwa omutuuze eyabadde agenze mu kabuyonjo okweyamba e Najjanakumbi mu Church zooni okumpi n'oluguuudo oludda e Busaabala nga guli mu kitaba ky'omusaayi.

Abatuuze baategeezezza poliisi nti waabaddewo omusajja eyabadde ayagala okumpagisa ennyumba nga'li n'omwana nga mulamu bulungi kyokka ne bamutegeezza nti ennyumba wano teziriiwo olwo ye n'abategeeza nga bw'annyoleddwa obutafuna nnyumba mu kifo kino bw'atyo n'atambula ne yeeyongerayo n'omwana.

Kigambibwa nti omusajja ono yalabirizza ab'oku mulirwano nga bayingidde mu nnyumba n'ayingiza omwana mu kabuyonjo n'amusobyako oluvannyuma n'amutuga n'amutta n'agezaako omulambo okugusuula mu kabuyonjo kyokka n'alemererwa n'adduka.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Katwe, Benon Ayebare yategeezezza nti bagenda kuyigga amayitire g'omutemu ono era bw'anaakwatibwa avunaanibwe emisango gy'obutemu n'okusobya ku mwana.

Omulambo gwqaggyiddwaawo poliisi ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago, Ayebare n'asaba buli eyabuliddwako omwana agende mu ddwaaliro e Mulago yeekebejje omulambo.

 

Ow''ettima asobezza ku mwana n''amutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...