TOP

Abapoliisi bakwatiddwa lwakutulugunya musibe

Added 21st January 2015

OMUKWANAGANYA wa poliisi n’omuntu waabulijjo mu Kampala n’emiriraano, ACP/Anatoli Muleterwa akutte abaserikale b’e Ntebe ne Kisubi basatu lwa kukuba musibe n’azirika ate DPC waabwe bwe yabatadde mu kaduukulu ne bagaana okusulamu.

Bya JOSEPH MUTEBI


OMUKWANAGANYA wa poliisi n’omuntu waabulijjo mu Kampala n’emiriraano, ACP/Anatoli Muleterwa akutte abaserikale b’e Ntebe ne Kisubi basatu lwa kukuba musibe n’azirika ate DPC waabwe bwe yabatadde mu kaduukulu ne bagaana okusulamu.

Bano kuliko; D/Sght Komaketch, PC Akampulira b’e Kisubi ne AIP /Nannyonga w’e Ntebe. Komaketch ne Akampulira bavunaanibwa okuggya Margaret Nansubuga mu kaduukulu ka poliisi e Ntebe ne bamukuba nga bamuzzaayo e Kisubi gye yakwatirwa.

Nansubuga agambibwa okubba kompyuta z’omu ngalo bbiri ez’omu-biikira.
DPC w’e Ntebe, Godfrey Ninsiima yategeezezza Muleterwa nti Komaketch ne Akampulira baggye Nansubuga mu kaduukulu e Kisubi okugenda okwaza ewuwe ku Mmande ng’ate baamukwata Lwamukaaga ne bamuleeta e Ntebe wabula ne bamukubira mu kkubo.

“Bwe nnasanze Nansubuga ng’agudde eri ku poliisi y’e Ntebe bamuwujja ne mbabuuza nga buli omu yeegaana bw’atalina ky’amanyi ng’ate omukyala alabika akubiddwa nnyo era kati ali ku kitanda,’’ Ninsiima bwe yategeezezza.

Wabula eky’okugaana okubaggalira mu kaduukulu kyaggye Muleterwa mu mbeera n’alagira ne AIP Nannyonga eyabadde avunaanyizibwa okulaba nti bano bombi basula mu kaduukulu akwatibwe era n’alagira batwalibwe e Katwe.

Wabula abakwate baategeezezza ng’omukyala bwe yagaanyi okubalaga ewuwe era bwe yasabye okugenda okweyamba n’ayagala adduke n’agwa n’afuna obuvune kyokka DPC yabigaanye. Bino Muleterwa yabitegedde alambula poliisi ezitwalibwa poliisi enkulu ey’e Ntebe okuli Kitooro, Mpala, Abayitababiri, Lugonjo n’awalala.

 

Abapoliisi bakwatiddwa lwakutulugunya musibe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...