TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Katabi bali mu maziga; Bamenye amayumba gaabwe

Ab'e Katabi bali mu maziga; Bamenye amayumba gaabwe

Added 24th January 2015

ABATUUZE ku kyalo Kavundira mu ggombolola y’e Katabi ku Lwokuna baakedde mu maziga bawannyondo ba kkooti nga bayambibwako Poliisi y’e Ntebe bwe baamenye amayumba gaabwe nga bagamba nti beesenza ku ttaka ly’omugagga Alfred Ibingira mu bukyamu era balina okulivaako.

 Bya Kigongo Sebalamu 

ABATUUZE ku kyalo Kavundira  mu ggombolola y’e Katabi ku Lwokuna baakedde mu maziga bawannyondo ba kkooti nga bayambibwako Poliisi y’e Ntebe  bwe baamenye  amayumba gaabwe nga bagamba nti beesenza ku ttaka ly’omugagga Alfred Ibingira  mu bukyamu era balina okulivaako.

Ennyumba ezisoba mu 20 ze zaamenyeddwa n’ebintu ebyabaddemu ebisinga ne byonoonebwa. Abamu ku bannannyini mayumba baasobodde okutaakirizaako ebintu byabwe ebimu.  Abatuuze beekalakaasizza  ne bateeka amayinja n’okukuma omuliro mu luguudo oluva e Kasenyi okumalira ddala kumpi essaawa nnamba.

Emirimu gyasannyaladde okumala ebbanga kyokka oluvannyuma Poliisi ng’eduumirwa Richard Maiko yabakubyeemu omukka ogubalagala n’ezikiza omuliro olwo emirimu ne giddamu okutambula.

Agamu ku mayumba agaamenyeddwa.

Abatuuze abaabadde abanyiivu  baalangidde Poliisi okwekobaana n’omugagga ne baboonoonera ebintu byabwe n’okubagoba ku ttaka kwe bamaze ebbanga eddene. Omu ku be baayonoonedde ebintu, Juliet Nassejje agamba nti Grace Ibingira, kitaawe wa Alfred Ibingira nga kati mugenzi yagenda okugula ettaka lino nga kwe bali.

Baalumbye  ssentebe waabwe, Christopher Kirumira okwekobaana n’omugagga n’abagoba sso nga y’abadde abakolera ku nsonga z’ettaka lyabwe ku  LC.

Richard Maiko yategeezezza nti Poliisi teyabadde na kkobaane lyonna ku ttaka wabula yabaddewo kukuuma bawannyondo kubanga bazze n’ekiragiro kya kkooti.

 

Ab’e Katabi bali mu maziga; Bamenye amayumba gaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu