TOP

Yiino waya taata gye yankubizza

Added 31st January 2015

POLIISI e Kabalagala eri kumuyiggo gw’omusajja obusungu gwe bwalinnye ku mutwe n’akkakkana ku mwana we n’amukubisa waya lwa 1,000/- Omach Richard akola ogw’obukuumi ku Kampala International University wabula nga mutuuze w’e Nsambya Gogonya Zooni yadduse oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okutul

Bya JUDITH NALUGWA

POLIISI e Kabalagala eri kumuyiggo gw’omusajja obusungu gwe bwalinnye ku mutwe n’akkakkana ku mwana we n’amukubisa waya lwa 1,000/- Omach Richard akola ogw’obukuumi ku Kampala International University wabula nga mutuuze w’e Nsambya Gogonya Zooni yadduse oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okutulugunya omwana Stephen Omar ow’emyaka omunaana.

Omara annyonnyodde nti kitaawe yamuwa 1,000/- akawungeezi agende agule ebijanjaalo.

Ayongeddeko nti ng’atambula waliwo omuntu eyamukoona ssente ne zimugwako, yazinoonya ne zibula kuba bwali buwungedde, kwe kuddayo awaka n’ategeeza kitaawe.

Ategeezezza nti yamukkakkanako n’amukubisa waya, oluvannyuma n’amusitula amagulu mu bbanga, omutwe n’agussa ku ttaka ekyavaako okunuuka ensingo.

Stewart Aron eyagguddewo omusango e Kabalagala ku fayiro SD: 45/23/01/2015 yagambye nti omwana ono yagenze ewuwe okuzannya ne banne nga bulijjo we yamulabidde ng’akyamye ensingo era ng’ajjudde ebiwundu mu mugongo.

Ayongeddeko nti maama w’abaana bano, Betty Aneck akolera Ntebe ng’awaka abeerawo Lwamukaaga na Ssande zokka. Akola ku nsonga z’abaana n’amaka e Kabalagala, Edith Komuswa yategeezezza nti Omach yagguddwako omusango gw’okutulugunya omwana nga bwe bamuyigga.

Yiino waya taata gye yankubizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...