TOP

Amazzi gatabudde ab'e Kawempe

Added 1st February 2015

ABATUUZE mu Kawempe beetegekedde bannabyabufuzi abasuubiza ne batatuukiriza era ne bateekawo obukkwakkulizo kw’abo abagenda okuvuganya.

Bya MOSES LEMISA

ABATUUZE mu Kawempe beetegekedde bannabyabufuzi abasuubiza ne batatuukiriza era ne bateekawo obukkwakkulizo kw’abo abagenda okuvuganya.

Baagambye nti, okulonda okujja baagala abantu abanaatuukiriza obweyamo bwabwe okusinga abo ababasuubiza empewo era mu kiseera kino ebintu ebisinga mu Kawempe tebikoleddwaako ng’abakulembeze abaliko bwe baasuubiza.

Bino byayogeddwa abatuuze mu bitundu bya Kawempe eby’enjawulo okuli Bwaise, Kyebando, Mulago, Kaleerwe, Mpereerwe, Nammere n'ebirala. Baategeezezza nti, bannabyabu¬fuzi abasinga kasita bayitamu tebaddayo kukola ku bizibu byabwe wabula okulonda bwe ku¬tuuka ne bakomawo ne baddamu okubalimba.

John Kamulegeya omutuuze w'e Bwaise yategeezezza nti, ku luno teri munnabyabufuzi agenda kubalimba nti, alina ky’agenda okubakolera kuba balimbiddwa ekimala. Yagambye nti, omubaka waabwe Ssebuliba baamulonda nga bamanyi nti ajja kubayamba okutwala ebiteeso byabwe mu Palamenti okuli okuzimba emyala, enzizi naye n'okutuusa kati abantu babonaabona.

"Ku luno bamala kukola ku bizibu byaffe okubawa obu¬lulu tukooye okutufuula abaana abato bw’otuuka mu bitundu gye tusula weewuunya osanga abantu amazzi ge bakozesa abamu bagas¬ena mu myala" Kamulegeya bwe yalaze obwennyamivu.

ENZIZI ZIRI MU MBEERA MBI

Kuliko Nnaalongo olusangibwa mu Lower Nsooba - Mulago luno lwa midumu kyokka gyabulira mu mazzi amacaafu nga lukimwako ebyalo ebiwerako okuli, Kyebando, Lufula y'oku Kaleerwe, Mulago n'abasula ku luguudo lwa Mawanda n'abatunda amalwa.

Edith Namubiru yategeezezza nti, oluzzi luno lumazeewo emyaka egisoba 40 naye baludde nga beegayirira ban¬nabyabufuzi kyokka buli alulambula abasuubiza nti agenda kulukola olumala taddayo nga ku luno babalinze mu kalulu nga teri gwe bagenda kuwa kalulu nga tamaze kukola nzizzi zaabwe

Yayambye nti, enkuba bw’etonnya oluzzi lwanjaala ate abaana n'abantu abakulu baluwugiramu n'abatuuze abamu basuulamu kazambi.

Yagambye nti, okuva ku LC okutuuka ku ggombolola ayagala okubakulem¬bera amala kubakolera ku bizibu okuli kuzimba agenda mu myala, enzizi n'ebirala.

Yayongeddeko nti abakulembeze baabwe okuli Munyagwa, Ssebuliba Mutumba ensonga zino bazimanyi naye tebazikulembeza.

DIKITA AYOGEDDE

Dr. James Byaruhanga yategeezezza nti, mu Kawempe omusujja gwa ‘ttayifooyidi’, n’ogw’ensiri gikwata nnyo abaana kubanga bwe bagenda ku luzzi banywa amazzi gano nga macaafu.

Yayongeddeko nti waliwo n'abakazi abafunye endwadde eziringa ezeekikaba nga kivudde ku mazzi amacaafu ge banaaba era bano basinze kuba mu Mulago III ne Bwaise III. Kawempe y'emu ku minisipaali ezikola Kampala era ekwata kisooka mu bucaafu olw’emyala emingi egitagogolwa mu biseera ssaako ne kasasiro

 

bagasAmazzi gatabudde ab’e Kawempe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...